Buuka ogende ku bubaka obulimu

Vidiyo ez’Okukuba Bukatuuni

Buvidiyo buno bukwata ku nsonga enkulu ennyo mu ngeri ekuleetera okunyumirwa nga bw’oyiga!

 

Engeri gy’Oyinza Okukozesaamu Ssente Zo Obulungi

Kwata bulungi ssente zo kati zisobole okukuyamba gye bujja

Tokkiriza Bulamu Bwo Kusaanawo

Wadde ng’abantu bangi banywa sigala oba bakozesa enkola ya vaping, abalala basobodde okuva ku sigala era n’abamu bafuba okumuvaako. Lwaki? Ddala kibi okunywa sigala?

Emizannyo gy’Oku Kompyuta: Ddala Owangula?

Emizannyo gy’oku kompyuta ginyuma, naye era gireeta ebizibu ebimu. Oyinza otya okwewala ebizibu ebyo era n’oba omuwanguzi owa ddala?

Okulekera Awo Okuba Omunakuwavu n’Oba Omusanyufu

Kiki ky’oyinza okukola ng’ennaku ekuyitiriddeko?

By’Osaanidde Okumanya ku by’Emizannyo

Eby’emizannyo bisobola okukuyigiriza ebintu gamba ng’okukolera awamu n’okuba n’empuliziganya n’abalala. Naye eby’emizannyo byandisaanye okuba ekimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bwo?

Sooka Ofumiitirize nga Tonnaba Kunywa

Omwenge guyinza okukwogeza oba okukukozesa ebintu n’obyejjusa oluvannyuma. Oyinza otya okwewala ebizibu ebiva mu kukozesa obubi omwenge?

Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?

Oyinza otya okuwuliziganya ne bazadde bo ng’owulira toyagala kwogera?

Essimu Yo y’Ekufuga oba Ggwe Agifuga?

Oli mu nsi erimu tekinologiya ow’omulembe, naye talina kukufuga. Oyinza otya okumanya oba ng’essimu yo y’ekufuga? Bwe kiba nti y’ekufuga, oyinza otya okugifuga?

Nnyinza Ntya Okufuna Eddembe Erisingawo?

Oyinza okuba ng’owulira nti osaanidde okuyisibwa ng’omuntu omukulu, naye bazadde bo bayinza obutakiraba bwe batyo. Biki by’oyinza okukola bazadde bo okusobola okukwesiga?

Nnyinza Ntya Okukomya Olugambo?

Bwe mutandika okwogera obubi ku bantu abalala, mukyuse kye mwogerako!

Omanya Otya Okwagala Okwa Nnamaddala?

Laba okwagala okutali kwa nnamaddala n’okwagala okwa nnamaddala kye bitegeeza.

Ziyiza Okupikirizibwa!

Ebintu bina ebisobola okukuyamba okwesalirawo.

Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi

Nyumirwa okuwuliziganya ne mikwano gyo ku intaneeti naye beera mwegendereza.

Ow’omukwano Owa Nnamaddala Abeera Atya?

Emikwano egy’ekicupuli myangu gy’akufuna, naye oyinza otya okufuna ow’omukwano owa nnamaddala?

By’Oyinza Okukola nga Waliwo Akuyiikiriza

Laba ensonga lwaki abalala bayiikiriza bannaabwe n’engeri gy’oyinza okwaŋŋangamu embeera eyo.