Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abanefuli Baali Baani?

Abanefuli Baali Baani?

Bayibuli ky’egamba

 Abanefuli baali baana bawagguufu era nga bakambwe nnyo bamalayika ababi be baazaala mu bawala b’abantu mu kiseera kya Nuuwa. *

 Bayibuli egamba nti, “abaana ba Katonda ow’amazima ne balaba ng’abawala b’abantu balabika bulungi.” (Olubereberye 6:2) “Abaana ba Katonda” abo baali bitonde bya mwoyo, abaajeemera Katonda bwe ‘baaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu’ mu ggulu, ne beeyambaza emibiri gy’abantu ne bajja ku nsi, era “ne batandika okuwasa bonna be baalondangamu.”​—Yuda 6; Olubereberye 6:2.

 Abaana abaazaalibwa okuva mu kwegatta okwo okutali kwa mu butonde tebaali baana ba bulijjo. (Olubereberye 6:4) Abanefuli baali bawagguufu, bakambwe, baayiikirizanga abalala, era bajjuza mu nsi ebikolwa eby’obukambwe. (Olubereberye 6:​13) Bayibuli eboogerako ‘ng’abaali ab’amaanyi era abaatiikirivu mu biseera eby’edda.’ (Olubereberye 6:4) Beekolera erinnya mu kukola ebikolwa eby’obukambwe era ne mu kutiisa abantu.​—Olubereberye 6:5; Okubala 13:33. *

Endowooza enkyamu ezikwata ku Banefuli

 Endowooza enkyamu: Abanefuli bakyaliwo leero ku nsi.

 Ekituufu: Yakuwa yaleeta amataba n’azikiriza ensi ey’edda eyalimu abantu abaali bakola ebikolwa eby’obukambwe. Abanefuli baazikirizibwa wamu n’abantu bonna ababi. Ku luuyi olulala, Nuuwa n’ab’omu maka ge bo baali bakola ebyo Katonda by’ayagala era be bokka abaawonawo mu kiseera ekyo.​—Olubereberye 6:9; 7:​12, 13, 23; 2 Peetero 2:5.

 Endowooza enkyamu: Bataata b’Abanefuli baali bantu.

 Ekituufu: Bataata baabwe baali bayitibwa “abaana ba Katonda ow’amazima.” (Olubereberye 6:2) Bayibuli ekozesa ebigambo ebyo bye bimu bw’eba eyogera ku bamalayika. (Yobu 1:6; 2:1; 38:7) Bamalayika basobola okweyambaza emibiri gy’abantu. (Olubereberye 19:​1-5; Yoswa 5:​13-​15) Omutume Peetero yayogera ku ‘myoyo egiri mu kkomera, egyajeema Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa.’ (1 Peetero 3:​19, 20) Omuwandiisi wa Bayibuli ayitibwa Yuda, bw’aba ayogera ku mbeera eyo y’emu agamba nti, bamalayika abamu ‘baaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu.’​—Yuda 6.

 Endowooza enkyamu: Abanefuli baali bamalayika abaagwa.

 Ekituufu: Ebiri mu Olubereberye 6:4 biraga nti Abanefuli tebaali bamalayika, wabula baali baana ab’obulenzi abaazaalibwa oluvannyuma lwa bamalayika abeeyambaza emibiri gy’abantu okwegatta n’abawala b’abantu. Oluvannyuma lwa bamalayika ‘okutandika okuwasa bonna be baalondangamu,’ Yakuwa yagamba nti oluvannyuma lw’emyaka 120 yali agenda kubaako ky’akolawo ku bantu b’omu kiseera ekyo abaali batatya Katonda. (Olubereberye 6:​1-3) Bayibuli egattako nti “mu biro ebyo,” bamalayika abeeyambaza emibiri gy’abantu “beeyongera okwegatta n’abawala b’abantu” era ne bazaala Abanefuli ‘abaali ab’amaanyi mu biseera eby’edda.’​—Olubereberye 6:4.

^ lup. 1 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “Abanefuli” kiyinza okuba kitegeeza “Abasuula.” Ekitabo ekiyitibwa Wilson’s Old Testament Word Studies kigamba nti ekigambo ekyo kitegeeza abo “abakola abantu ebikolwa eby’obukambwe era ababaggyako ebintu byabwe mu bukambwe, era ne babasuula wansi.”

^ lup. 3 Kirabika abakessi Abayisirayiri aboogerwako mu Okubala 13:33 baalaba abantu abaabajjukiza Abanefuli, abaali baazikirizibwa emyaka mingi emabega.​—Olubereberye 7:​21-​23.