Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala mu Katonda Omu Mulimu Bakatonda Basatu?

Ddala mu Katonda Omu Mulimu Bakatonda Basatu?

Bayibuli ky’egamba

 Amadiini mangi ageeyita Amakristaayo gayigiriza nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu. Naye ekitabo Encyclopædia Britannica kigamba nti: ‘Enjigiriza egamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu terina w’erabikira mu Ndagaano Empya. Enjigiriza eyo abantu bajja bagikulaakulanya mpolampola era nga bakubagana empawa.’

 Mu butuufu, Bayibuli terina wonna w’egambira nti Katonda ow’amazima alimu bakatonda basatu. Weetegereze ennyiriri zino okuva mu Bayibuli:

 “Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.”—Ekyamateeka 6:4.

 “Erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”—Zabbuli 83:18.

 “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.

 “Katonda ali omu yekka.”—Abaggalatiya 3:20.

 Lwaki amadiini agasinga obungi ageeyita Amakristaayo gagamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu?