Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Kulya Ebisiyaga?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kulya Ebisiyaga?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda akkiriza omusajja n’omukazi okwegatta nga bamaze kufumbiriganwa. (Olubereberye 1:​27, 28; Eby’Abaleevi 18:22; Engero 5:​18, 19) Bayibuli evumirira ebikolwa byonna eby’obugwenyufu. (1 Abakkolinso 6:​18) Ebikolwa ebyo bizingiramu omusajja n’omukazi okwegatta nga si bafumbo, okulya ebisiyaga, okutigaatiga ebitundu by’ekyama eby’omulala, n’okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama.

 Wadde nga Bayibuli evumirira okulya ebisiyaga, tewagira kukyawa balyi ba bisiyaga. Mu kifo ky’ekyo, Abakristaayo basaanidde ‘okuwa abantu aba buli ngeri ekitiibwa.’​—1 Peetero 2:​17.

 Kisoboka omuntu okuzaalibwa nga mulyi wa bisiyaga?

Wadde nga Bayibuli eraga nti ffenna tuzaalibwa ng’emitima gyaffe gyekubidde ku kukola bintu bikontana n’amateeka ga Katonda, teyogera ku ebyo ebigambibwa nti waliwo abantu abazaalibwa nga balyi ba bisiyaga. (Abaruumi 7:​21-​25) Mu kifo ky’okwogera ku biviirako abantu abamu okulya ebisiyaga, Bayibuli evumirira omuze ogwo.

 By’oyinza okukola okwewala okwegomba okwegatta n’abantu ab’ekikula kyo.

Bayibuli egamba nti: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu.” (Abakkolosaayi 3:5) Okusobola okwewala okwegomba okubi okuyinza okukuviiramu okukola ebintu ebibi, weetaaga okufuga ebirowoozo byo. Bulijjo bw’ofuba okulowooza ku bintu ebirungi, kijja kukwanguyira okwewala okwegomba okubi. (Abafiripi 4:8; Yakobo 1:​14, 15) Wadde nga kiyinza obutakwanguyira mu kusooka, ojja kutuuka ku buwanguzi. Katonda asuubiza okukuyamba ‘okufuulibwa omuggya mu ndowooza yo.”​—Abeefeso 4:​22-​24.

 N’abantu abeegomba okwegatta nga tebannaba kufumbiriganwa, balina okufuba okweggyamu okwegomba okwo basobole okukolera ku mitindo gya Katonda egiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, abo abali obwannamunigina nga balina essuubi ttono ery’okufumbirwa oba ery’okuwasa, oba abo abali mu bufumbo naye nga munnaabwe mu bufumbo tasobolerako ddala kwegatta, basalawo okwefuga ne bwe baba nga bafuna ebikemo. Abantu ng’abo basobola okubaawo nga basanyufu. N’abo abeegomba okwegatta n’abantu be bafaanaganya nabo kikula basobola okwefuga bwe kiba nga ddala baagala okusanyusa Katonda.​—Ekyamateeka 30:19.