Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okuba Omutukuvu Kitegeeza Ki?

Okuba Omutukuvu Kitegeeza Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Okuba omutukuvu kitegeeza okuba omuyonjo oba omulongoofu. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “obutukuvu” kiva mu kigambo ekitegeeza “okwawulibwawo.” N’olwekyo, ekintu ekitukuvu ky’ekyo ekyawuliddwawo obutakozesebwa mu mirimu egya bulijjo, nnaddala olw’okuba kiyonjo.

 Katonda y’asingirayo ddala okuba omutukuvu. Bayibuli egamba nti: “Tewali mutukuvu nga Yakuwa.” * (1 Samwiri 2:2) N’olwekyo, Katonda y’alina obuyinza okussaawo omutindo gw’obutukuvu.

 Ekigambo “obutukuvu” kisobola okukozesebwa ku kintu kyonna ekikwataganyizibwa ne Katonda, nnaddala ebintu ebyawuliddwawo okukozesebwa mu kusinza mwokka. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku:

  •   Ebifo ebitukuvu: Katonda yayogera ne Musa okumpi n’ekisaka ekyali kyaka omuliro n’amugamba nti: “Ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.”—Okuva 3:2-5.

  •   Emikolo emitukuvu: Abayisirayiri ab’edda baakuŋŋaananga buli mwaka okusinza Yakuwa, era enkuŋŋaana ezo zaayitibwanga “enkuŋŋaana entukuvu.”—Eby’Abaleevi 23:37.

  •   Ebintu ebitukuvu: Ebintu ebyakozesebwanga mu kusinza Katonda mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi byayitibwanga ‘ebintu ebitukuvu.’ (1 Bassekabaka 8:4) Ebintu ebyo byalina okukwatibwa n’obwegendereza, naye tebyalina kusinzibwa. *

Omuntu atatuukiridde asobola okuba omutukuvu?

 Yee. Katonda agamba Abakristaayo nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.” (1 Peetero 1:16) Kyo kituufu nti abantu abatatuukiridde tebasobola kutuuka ku kigero ky’obutukuvu bwa Katonda. Wadde kiri kityo, abantu abagondera amateeka ga Katonda ag’obutuukirivu basobola okutwalibwa ‘ng’abatukuvu era abasiimibwa Katonda.’ (Abaruumi 12:1) Omuntu afuba okuba omutukuvu akyoleka mu bigambo ne mu bikolwa. Ng’ekyokulabirako, agoberera okubuulirira okuli mu Bayibuli okugamba nti “mubeere batukuvu era mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu,” n’okugamba nti “mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna.”—1 Abassessalonika 4:3; 1 Peetero 1:15.

Omuntu asobola okulekera awo okuba omutukuvu mu maaso ga Katonda?

 Yee. Omuntu bw’alekera awo okugoberera emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa, Katonda aba takyamutwala ng’omutukuvu. Ng’ekyokulabirako, ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Abebbulaniya kyawandiikirwa “ab’oluganda abatukuvu,” kyokka kyalimu okulabula eri ab’oluganda abo nti baali bayinza okufuna “omutima omubi ogutalina kukkiriza olw’okuva ku Katonda omulamu.”—Abebbulaniya 3:1, 12.

Endowooza enkyamu ezikwata ku kuba omutukuvu

 Endowooza enkyamu: Omuntu bwe yeerumya asobola okufuuka omutukuvu.

 Ekituufu: Bayibuli eraga nti ‘okubonyaabonya omubiri,’ oba okwerumya, ‘tekulina mugaso’ mu maaso ga Katonda. (Abakkolosaayi 2:23) Mu kifo ky’ekyo, Katonda ayagala tunyumirwe obulamu. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.”—Omubuulizi 3:13.

 Endowooza enkyamu: Omuntu okusigala nga si mufumbo kimufuula omutukuvu.

 Ekituufu: Wadde ng’Omukristaayo asobola okusalawo okusigala nga si mufumbo, ekyo ku bwakyo tekimufuula mutukuvu mu maaso ga Katonda. Kyo kituufu nti abo abasigala nga si bafumbo basobola okuweereza Katonda nga tewali kibataataaganya. (1 Abakkolinso 7:32-34) Kyokka, Bayibuli eraga nti n’abafumbo basobola okuba abatukuvu. Mu butuufu, omu ku batume ba Yesu ayitibwa Peetero yali mufumbo.—Matayo 8:14; 1 Abakkolinso 9:5.

^ lup. 2 Yakuwa lye linnya lya Katonda. Ebyawandiikibwa bingi bikwataganya erinnya eryo n’ekigambo “omutukuvu” oba “obutukuvu.”

^ lup. 6 Bayibuli evumirira okusinza ebintu ebitwalibwa ng’ebitukuvu.—1 Abakkolinso 10:14.