Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okuzuukira Kye Ki?

Okuzuukira Kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Mu Bayibuli, ekigambo ekyavvuunulwa “okuzuukira,” kiri a·naʹsta·sis, mu Luyonaani, era nga kitegeeza “okuyimuka” oba “okuddamu okuyimirira.” Omuntu azuukiziddwa addamu n’abeera nga bwe yali nga tannafa.​—1 Abakkolinso 15:12, 13.

 Wadde ng’ekigambo “okuzuukira” tekiriimu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebitera okuyitibwa Endagaano Enkadde, enjigiriza eyo mweri mu byawandiikibwa ebyo. Ng’ekyokulabirako, okuyitira mu nnabbi Koseya, Katonda yasuubiza nti: “Ndibanunula mu buyinza bw’amagombe; ndibaggya mu kufa.”​—Koseya 13:14; Yobu 14:13-15; Isaaya 26:19; Danyeri 12:2, 13.

 Abantu abanaazuukizibwa banaabeera wa? Abantu abamu bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu okufugira awamu ne Kristo nga bakabaka. (2 Abakkolinso 5:1; Okubikkulirwa 5:9, 10) Okuzuukira okwo Bayibuli ekuyita “kuzuukira okusooka,” ekiraga nti wajja kubaawo okuzuukira okuddirira. (Okubikkulirwa 20:6; Abafiripi 3:11) Abantu abasinga obungi bajja kuzuukira mu kuzuukira okwo okuddirira, era bajja kunyumirwa obulamu emirembe gyonna ku nsi.​—Zabbuli 37:29.

 Abantu banaazuukizibwa batya? Katonda yawa Yesu amaanyi okuzuukiza abafu. (Yokaana 11:25) Yesu ajja kuzuukiza abo “bonna abali mu ntaana” era buli omu ajja kubeera nga bwe yali, era ng’ajjukira ebintu bye yali amanyi nga tannafa. (Yokaana 5:28, 29) Abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu bazuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo, ate abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi, bajja kuzuukizibwa n’omubiri ogw’ennyama era nga balamu bulungi.​—Isaaya 33:24; 35:5, 6; 1 Abakkolinso 15:42-44, 50.

 Baani abanaazuukizibwa? Bayibuli egamba nti “wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abatuukirivu mwe muli abantu abaali abeesigwa eri Katonda gamba nga Nuuwa, Saala, ne Ibulayimu. (Olubereberye 6:9; Abebbulaniya 11:11; Yakobo 2:21) Abatali batuukirivu beebo abataagoberera mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu olw’okuba tebaafuna kakisa kuyiga mitindo egyo.

 Kyokka abantu abakola ebintu ebibi era ne bagaana okukyuka, tebajja kuzuukizibwa. Abantu ng’abo bwe bafa bazikiririra ddala era tebaba na ssuubi lya kuddamu kuba balamu.​—Matayo 23:33; Abebbulaniya 10:26, 27.

 Abantu banaazuukizibwa ddi? Bayibuli egamba nti abo abandizuukiziddwa okugenda mu ggulu, bandizuukiziddwa mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo. Ekiseera ekyo kyatandika mu 1914. (1 Abakkolinso 15:21-23) Abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi, bajja kuzuukizibwa mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi, era mu kiseera ekyo ensi eriba efuulibwa olusuku lwa Katonda.​—Lukka 23:43; Okubikkulirwa 20:6, 12, 13.

 Lwaki wandikkirizza nti abantu bajja kuzuukira? Bayibuli eyogera ku kuzuukira kwa mirundi mwenda. Era okuzuukira okwo kwonna waliwo abaakuwaako obukakafu nti kwaliwo. (1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:20, 21; Lukka 7:11-17; 8:40-56; Yokaana 11:38-44; Ebikolwa 9:36-42; Ebikolwa 20:7-12; 1 Abakkolinso 15:3-6) Ng’ekyokulabirako, Yesu yazuukiza Laazaalo eyali amaze ennaku nnya ng’afudde, era yamuzuukiza nga waliwo abantu bangi. (Yokaana 11:39, 42) N’abo abaali bataagala Yesu tebaawakanya ekyo Yesu kye yakola, wabula baakola olukwe okutta Yesu ne Laazaalo.​—Yokaana 11:47, 53; 12:9-11.

 Bayibuli eraga nti Katonda alina obusobozi obw’okuzuukiza abantu abaafa, era nti ayagala nnyo okubazuukiza. Ajjukira ebyo byonna ebikwata ku buli muntu gw’ajja okuzuukiza. (Yobu 37:23; Matayo 10:30; Lukka 20:37, 38) Bayibuli bw’eba eyogera ku kuzuukira okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, eyogera bw’eti ku Katonda: “Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.”​—Yobu 14:15.

Endowooza enkyamu ku kuzuukira

 Endowooza enkyamu: Okuzuukira kitegeeza omwoyo gw’omuntu okudda mu mubiri gwe.

 Ekituufu: Bayibuli eyigiriza nti omuntu bw’afa alekera awo okuba omulamu, era tewali kiwonawo ng’omuntu afudde. (Omubuulizi 9:5,10) N’olwekyo omuntu bw’azuukizibwa, addamu okutondebwa n’aba omulamu.

 Endowooza enkyamu: Abantu abamu bazuukizibwa, amangu ddala ne bazikirizibwa.

 Ekituufu: Bayibuli egamba nti abantu “abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.” (Yokaana 5:29) Kyokka abantu abo bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye balikola oluvannyuma lw’okuzuukira, so si ebyo bye baakola nga tebannafa. Yesu yagamba nti: ‘Abafu baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda era abo abaliba bataddeyo omwoyo baliba balamu.’ (Yokaana 5:25) Abo ‘abalissaayo omwoyo’ oba abalikolera ku ebyo bye baliyiga oluvannyuma lw’okuzuukira, bajja kuwandiikibwa mu “muzingo ogw’obulamu.”​—Okubikkulirwa 20:12, 13.

 Endowooza enkyamu: Omuntu bw’anaazuukizibwa, ajja kufuna omubiri gwennyini gwe yalina nga tannafa.

 Ekituufu: Omuntu bw’afa, omubiri gwe guvunda ne gusaanawo.​—Omubuulizi 3:​19, 20.