Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Esobola Okutuyamba Okwaŋŋanga Ebizibu by’Eby’enfuna n’Amabanja?

Bayibuli Esobola Okutuyamba Okwaŋŋanga Ebizibu by’Eby’enfuna n’Amabanja?

Bayibuli ky’egamba

 Yee. Amagezi gano agava mu Bayibuli gasobola okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu by’eby’enfuna n’amabanja:

  1.   Weegendereze engeri gy’okozesaamu ssente. “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.” (Engero 21:5) Toyanguyiriza kugula kintu olw’okuba kiri ku katale. Kola embalirira ku ngeri gy’okozesaamu ssente zo era oginywerereko.

  2.   Weewale okufuna amabanja agateetaagisa. “Oyo eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.” (Engero 22:7) Bwe kiba nti olina ebbanja naye nga tosobola kulisasulira mu bbanga lye mwakkiriziganyaako, gezaako okuteesa n’oyo eyakuwola. Tokoowa kumutuukirira. Kozesa amagezi gano Bayibuli g’ewa oyo atakozesa magezi nga yeewola ne kiba nga kimukakatako okusasula ebbanja: “Genda gy’ali weetoowaze, omwegayirire. Teweebaka, era tosumagira okutuusa ng’omaze okukikola.” (Engero 6:1-5) Mu kusooka ne bw’agaana okusaba kwo, tokoowa kugenda gy’ali kumwegayirira akyuseemuko.

  3.   Beera n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente. “Omuntu ow’ensaalwa ayagala nnyo okugaggawala, kyokka n’atamanya nti aliyavuwala.” (Engero 28:22) Ensaalwa n’omululu biyinza okuleetera omuntu okufuna ebizibu eby’eby’enfuna n’okumulemesa okufuna obudde okunyweza enkolagana ye ne Katonda.

  4.   Ba mumativu. “Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Timoseewo 6:8) Ssente tezisobola kugula ssanyu lya nnamaddala. Abamu ku bantu abasingayo okuba abasanyufu mu nsi tebalina ssente nnyingi. Naye balina enkolagana ennungi n’ab’omu maka gaabwe, ne mikwano gyabwe, era ne Katonda.​—Engero 15:17; 1 Peetero 5:6, 7.