Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yesu Alokola—Mu Ngeri Ki?

Yesu Alokola—Mu Ngeri Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Yesu yalokola abantu abeesigwa bwe yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lwabwe. (Matayo 20:28) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli eyita Yesu “Omulokozi w’ensi.” (1 Yokaana 4:14) Ate era Bayibuli egamba nti: “Tewali mulokozi mulala wabula ye, kubanga tewali linnya ddala wansi w’eggulu eriweereddwa abantu mwe tuyinza okufunira obulokozi.”—Ebikolwa 4:12.

 Yesu ‘yalega ku kufa ku lwa buli muntu’ amukkiririzaamu. (Abebbulaniya 2:9; Yokaana 3:16) Oluvannyuma “Katonda yamuzuukiza okuva mu bafu,” n’addayo mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo. (Ebikolwa 3:15) Ng’ali eyo, “asobola okulokolera ddala abo abatuukirira Katonda okuyitira mu ye, kubanga bulijjo aba mulamu okwegayirira ku lwabwe.”—Abebbulaniya 7:25.

Lwaki twetaaga Yesu okwegayirira ku lwaffe?

 Ffenna tuli boonoonyi. (Abaruumi 3:23) Ekibi kyassaawo olukonko wakati waffe ne Katonda, era kituviirako okufa. (Abaruumi 6:23) Naye Yesu akola ‘ng’omuwolereza’ ku lw’abo abakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo gye yawaayo. (1 Yokaana 2:1, obugambo obuli wansi) Yeegayirira ku lwabwe ng’asaba Katonda awulirize essaala zaabwe era abasonyiwe ebibi byabwe ng’asinziira ku ssaddaaka gye yawaayo. (Matayo 1:21; Abaruumi 8:34) Katonda awuliriza okwegayirira okwo kubanga kukwatagana n’ekigendererwa kye. Katonda yatuma Yesu ku nsi, “ensi esobole okulokolebwa okuyitira mu ye.”—Yokaana 3:17.

Okukkiririza mu Yesu kye kyokka ekyetaagisa okusobola okulokolebwa?

 Nedda. Wadde nga tulina okukkiririza mu Yesu okusobola okulokolebwa, twetaaga okukola ekisingawo ku ekyo. (Ebikolwa 16:30, 31) Bayibuli egamba nti: “Ng’omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, bwe kutyo n’okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.” (Yakobo 2:26) Okusobola okulokolebwa tulina:

  •   Okuyiga ebikwata ku Yesu, ne Kitaawe Yakuwa.—Yokaana 17:3.

  •   Okubakkiririzaamu bombi.—Yokaana 12:44; 14:1.

  •   Okwoleka okukkiriza mu bikolwa nga tugondera amateeka gaabwe. (Lukka 6:46; 1 Yokaana 2:17) Yesu yagamba nti si buli muntu amuyita ‘Mukama we’ y’alirokolebwa, wabula abo bokka ‘abakola Kitaawe ali mu ggulu by’ayagala.’—Matayo 7:21.

  •   Okweyongera okwoleka okukkiriza wadde nga tulina ebizibu. Ekyo Yesu yakiraga bulungi bwe yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”—Matayo 24:13.