Buuka ogende ku bubaka obulimu

Akatabo Akalimu Mmaapu z’Ebifo Ebyogerwako mu Bayibuli

Akatabo Akalimu Mmaapu z’Ebifo Ebyogerwako mu Bayibuli

Akatabo “Laba Ensi Ennungi” kalimu mmaapu z’ebifo ebyogerwako mu Bayibuli, era kasobola okukuyamba okweyongera okuteegera ebyo by’osoma mu Bayibuli. Bayibuli eyogera ku bifo bingi, ebibuga, n’ensi ezitali zimu. Bw’okozesa mmaapu eziri mu katabo kano kikuyamba okunyumirwa ebyo by’oba osoma. Akatabo “Laba Ensi Ennungi” kakuyamba okukuba akafaananyi ku bintu ebyogerwako mu Bayibuli n’okulaba ebifo ebintu ebyo gye byali. Ate era kakuyamba okulaba engeri emigga, ensozi, ebibuga n’enguudo gye bituyamba okwongera okutegeera ebintu ebyaliwo ebyogerwako mu Bayibuli.

Akatabo “Laba ensi ennungi” kalimu mmaapu n’ebipande ebya langi ez’enjawulo ebiraga ebifo ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli. Ate era kalimu ebifaananyi n’ebintu ebirala ebikuyamba okuganyulwa ennyo mu kwesomesa.

Akatabo kano kajja kukuyamba

  • okumanya ebitundu ebitali bimu Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bye baagendamu

  • okulaba Abayisirayiri gye baayita bwe baava e Misiri ne bagenda mu Nsi Ensuubize

  • okumanya ekifo ensi ya Isirayiri we yali, n’ekifo amawanga agaalinga gagirumba we gaali

  • okulaba ebifo Yesu bye yagendamu mu buweereza bwe

  • okulaba obunene bw’obwakabaka obutali bumu obwogerwako mu Bayibuli, gamba ng’obwa Babulooni, Buyonaani, ne Rooma

Osobola okusoma akatabo kano ku bwereere ng’okozesa Watchtower ONLINE LIBRARY.