Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 101

Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

(Abeefeso 4:3)

  1. 1. Yakuwa ’tukuŋŋaanyizza;

    Tufuuse ’bantu be ffenna.

    Tuli wamu mu mirembe;

    Tuli basanyufu.

    Obumu bulungi;

    Tubwagala nnyo.

    Katonda ’tuyigiriza

    ’Kuyitira mu Mwana we.

    Ka tubenga bawulize,

    Tukuume nnyo ’bumu.

  2. 2. Obumu bwe tubusaba

    Era ne tuba ba kisa,

    Okwagala kweyongera

    ’Wamu n’emirembe.

    ’Mirembe gyagalwa;

    Gisanyusa nnyo.

    Bwe tubeera n’okwagala

    Katonda ajja kutuwa

    Emirembe, tube bumu

    Nga tumuweereza.