Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 106

Okukulaakulanya Okwagala

Okukulaakulanya Okwagala

(1 Abakkolinso 13:1-8)

  1. 1. Tusaba Katonda ’tuyambe

    Nga tufuba ’kkopp’e ngeri ze;

    Gye tusing’o kwagal’o kkoppa

    Kwe kwagala okwo kw’alina.

    ’Bitone byaffe bibe bingi,

    ’Watali kwagala, bya busa.

    Tufub’o kwolek’o kwagala

    Mu bintu byonna bye tukola.

  2. 2. Okwagala kwolek’e kisa

    Era kufaayo ku balala.

    Tekubaako gwe kunyiigira;

    Kusonyiwa abatunyiiza.

    ’Kwagala kugumiikiriza;

    Kwetikka emigugu gyonna.

    Kugumira ebintu byonna;

    ’Kwagala tekulemererwa.