Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 119

Tulina Okuba n’Okukkiriza

Tulina Okuba n’Okukkiriza

(Abebbulaniya 10:38, 39)

  1. 1. Katonda yayogera n’abantu

    Ng’ayitira mu bannabbi.

    Kati ayitira mu Mwana we;

    Atugamba twenenye.

    (CHORUS)

    Tulina okukkiriza?

    Kulina ’kuba ’kunywevu.

    Bye tukola bikyoleka?

    Tukunyweze tufun’o bulamu.

  2. 2. Tukola Yesu kye yatugamba;

    Tubuulira buli wamu.

    Tutuusa ku bantu obubaka;

    Twogera na buvumu.

    (CHORUS)

    Tulina okukkiriza?

    Kulina ’kuba ’kunywevu.

    Bye tukola bikyoleka?

    Tukunyweze tufun’o bulamu.

  3. 3. Okukkiriza kwaffe kunywevu.

    Tetugenda kudda nnyuma.

    Yakuwa Katonda gwe twesize;

    Ajja kutulokola.

    (CHORUS)

    Tulina okukkiriza?

    Kulina ’kuba ’kunywevu.

    Bye tukola bikyoleka?

    Tukunyweze tufun’o bulamu.