Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 130

Sonyiwanga

Sonyiwanga

(Zabbuli 86:5)

  1. 1. Yakuwa Katonda

    Akoze ’nteekateeka,

    Tusonyiyibwe ebibi

    N’okufa kuggibwewo.

    Singa twenenyeza ddala

    Era ne tumusaba

    Mu linnya lya Yesu Kristo,

    Talema kusonyiwa.

  2. 2. Ddala tusaasirwa

    Bwe tukoppa Yakuwa

    Ne twoleka okwagala,

    Nga tusonyiwagana.

    Tugumiikirizagane,

    Obumu tubukuume;

    Tuwaŋŋane ekitiibwa,

    Ffenna ng’ab’oluganda.

  3. 3. Tugwanidd’o kuba

    ’Bantu abasaasira,

    Abatasiba kiruyi,

    Aboolek’o kwagala.

    Bwe tunaakoppa Yakuwa

    Katonda ’w’okwagala,

    Era ne tusonyiwanga,

    Tujja kumufaanana.