Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 135

Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

(Engero 27:11)

  1. 1. Abavubuka mumpe

    ’mitima gyammwe;

    N’oyo anvuma nze

    ajja kukiraba.

    Muwaddeyo obulamu

    bwammwe gye ndi;

    Mulaga ensi yonna

    ekyo kye muli.

    (CHORUS)

    Mwana wange ow’omuwendo,

    Ggwe beeranga wa magezi,

    Ompeereze n’omutima gwo,

    Era ondeetere ’ttendo.

  2. 2. Sanyukiranga nnyo

    ’kwewaayo kwo gye ndi;

    Ne bw’oba ogudde,

    Nja kukuyimusa.

    Ka wabeewo

    akumalamu amaanyi,

    Kimanye nti oli

    wa muwendo gye ndi.

    (CHORUS)

    Mwana wange ow’omuwendo,

    Ggwe beeranga wa magezi,

    Ompeereze n’omutima gwo,

    Era ondeetere ’ttendo.