Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 65

Weeyongere mu Maaso!

Weeyongere mu Maaso!

(Abebbulaniya 6:1)

  1. 1. Weeyongere okukulaakulana!

    Yamba n’abalala okulaba ’mazima.

    Obuweereza bwo bulongoosenga,

    Oweebwe emikisa.

    ’Mulimu gwaffe kubuulira,

    Era ne Yesu yabuulira.

    Weesige Katonda oleme kugwa.

    Nywerera mu mazima.

  2. 2. Yongera ’kubuulira n’obuvumu!

    Tuusa obubaka ku bantu buli wamu.

    Yakuwa ali naawe; ba mugumu,

    Ng’obuulira nju ku nju.

    Ka wabeewo abakutiisa,

    Toggwaamu maanyi; buuliranga.

    Obwakabaka bwa Katonda bujja.

    Fub’o kuyamba ’bantu.

  3. 3. Weeyongere mu maaso; todda nnyuma.

    Eby’okukola bingi;

    yongera ’kkuguka.

    Katonda musabenga omwoyo gwe.

    Taaleme kukuyamba.

    Yagala ’bantu b’obuulira;

    Yongera okubaddiŋŋana.

    Bayambe nabo ’kukulaakulana,

    Boolese ’kitangaala.