Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 81

Obulamu bwa Payoniya

Obulamu bwa Payoniya

(Omubuulizi 11:6)

  1. 1. Obudde nga bukya, enjuba ng’evaayo,

    Tusaba Yakuwa

    ne tugenda okubuulira.

    Omulimu gwaffe gutunyumira nnyo

    Wadde si bonna nti

    basiima obubaka bwaffe.

    (CHORUS)

    Ffe twesalirawo

    ’Kuweereza tutyo,

    Okugulumiza Yakuwa.

    Tugumira byonna,

    ’Nkuba n’omusana.

    Yakuwa tuba tumugamba: “Nkwagala.”

  2. 2. Bwe buba buzibye, nga tuddayo eka,

    Tuba tukooye nnyo

    naye tubeera basanyufu.

    Tusaba Yakuwa era tumwebaza,

    Kubanga atuwa

    emikisa buli lunaku.

    (CHORUS)

    Ffe twesalirawo

    ’Kuweereza tutyo,

    Okugulumiza Yakuwa.

    Tugumira byonna,

    ’Nkuba n’omusana.

    Yakuwa tuba tumugamba: “Nkwagala.”