Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 9

Yakuwa ye Kabaka Waffe!

Yakuwa ye Kabaka Waffe!

(Zabbuli 97:1)

  1. 1. Muwe Yakuwa ekitiibwa.

    ’Ggulu lyolek’o butuukirivu bwe.

    Tumutendereze; tumuyimbirenga.

    Tumanyise byonna by’akola.

    (CHORUS)

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!

  2. 2. Mumanyise ekitiibwa kye

    Kuba ye Katonda Omulokozi.

    Yakuwa Kabaka; agwana ettendo.

    Ffe tuvunnama mu maaso ge.

    (CHORUS)

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!

  3. 3. Ataddewo ’Bwakabaka bwe.

    Atuuzizza Omwana we ku ntebe.

    Bakatonda b’ensi

    bafeebezeddwa nnyo;

    Yakuwa y’atenderezebwa.

    (CHORUS)

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!

    ’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,

    Kuba Yakuwa ye Kabaka!