Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 94

Tusiima Ekigambo kya Katonda

Tusiima Ekigambo kya Katonda

(Abafiripi 2:16)

  1. 1. Yakuwa Kitaffe, nga twesiimye nnyo

    ’Kuba nti tulina Ekigambo kyo!

    Ebikirimu byonna,

    ggwe wabiruŋŋamya.

    Kituyigiriza; kituluŋŋamya.

  2. 2. Kirina amaanyi mangi nnyo ddala.

    Kitutuukira ddala ku mutima.

    Kitwoleka kye tuli

    ne bye twettanira.

    Kiwa amagezi; kituwabula.

  3. 3. Byonna bye tusoma mu Kigambo kyo

    Bya muganyulo nnyo; bitukwatako.

    Tuyambe bye tuyiga

    tubikolereko.

    Tusiima nnyo ddala Ekigambo kyo.