Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 152

Ekifo Ekinaakuleetera Ettendo

Ekifo Ekinaakuleetera Ettendo

(1 Bassekabaka 8:27; 1 Ebyomumirembe 29:14)

  1. 1. Yakuwa, ’Mutonzi w’eggulu.

    Ekitiibwa kyo kingi nnyo.

    Eggulu n’ensi tobigyaamu,

    Naye otuw’o mwoyo gwo.

    Ekifo kino kye tuzimbye

    Tujja kukikozesanga

    Mu kusinza okw’amazima

    Tukuleetere ettendo.

    (BRIDGE)

    Buli kye tulina

    Kiva gy’oli, Yakuwa.

    Byonna bye tukuwa ffe

    Ggwe eyabituwa.

    (CHORUS)

    Otukoledde ’bintu bingi;

    Kyetuva tukuyimbira.

    Weebale ’kutusobozesa

    Kkuzimbir’e kifo kino.

  2. 2. Yakuwa wali okimanyi

    Nti twetaag’e kifo kino

    Okusobola okukola

    Ebiganyula ’bantu bo.

    Ekifo kino kye tuzimbye.

    Ka kitusobozesenga

    Okukola omulimu gwo

    Omwana wo gw’atuwadde.

    (BRIDGE)

    Ka tuweeyo gy’oli

    Ebising’o bulungi;

    Kubanga ebirungi—

    Byonna biva gy’oli.

    (CHORUS)

    Otukoledde ’bintu bingi;

    Kyetuva tukuyimbira.

    Weebale ’kutusobozesa

    Kkuzimbir’e kifo kino.