Engero 14:1-35

  • Omutima gumanyi ennaku yaagwo (10)

  • Ekkubo erirabika ng’eddungi litwala mu kufa (12)

  • Atalina bumanyirivu akkiriza buli kigambo (15)

  • Omugagga aba n’emikwano mingi (20)

  • Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu (30)

14  Omukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye,+Naye omusirusiru agimenyaamenya n’emikono gye.   Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Yakuwa,Naye oyo atambulira mu makubo ag’obukuusa* amunyooma.   Omuggo ogw’amalala guba mu kamwa k’abasirusiru,Naye emimwa gy’ab’amagezi gibakuuma.   Bwe watabaawo nte, olutiba mwe ziriira luba luyonjo,Naye olw’amaanyi g’ente ennume ebikungulwa biba bingi.   Omujulizi omwesigwa talimba,Naye omujulizi ow’obulimba ayogera bulimba bwereere.+   Omukudaazi anoonya amagezi n’atagafuna,Naye omuntu omutegeevu ayanguyirwa okumanya ebintu.+   Weewale omuntu omusirusiru,Kubanga tolimuwulira ng’ayogera eby’amagezi.+   Amagezi gayamba omutegeevu okumanya gy’alaga,Naye abasirusiru babuzaabuzibwa obusirusiru bwabwe.*+   Abasirusiru baseka busesi ne bwe baba nga balina ekibi kye bakoze,+Naye abagolokofu baba beetegefu okutabagana n’abalala.* 10  Omutima gumanyi ennaku yaagwo,Era tewali muntu mulala asobola kugabana ku ssanyu lyagwo. 11  Ennyumba y’ababi ejja kuzikirizibwa,+Naye weema y’abagolokofu ejja kweyongera okugaziwa. 12  Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu,+Naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.+ 13  Omuntu ne bw’aba ng’aseka, ayinza okuba ng’alina obulumi ku mutima,Era essanyu liyinza okuvaamu ennaku. 14  Omuntu omujeemu akungula ebyo ebiva mu nneeyisa ye,+Naye omuntu omulungi afuna empeera eva mu bikolwa bye.+ 15  Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba,Naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.+ 16  Omuntu ow’amagezi yeegendereza era yeewala okukola ebibi,Naye omusirusiru teyeegendereza* era yeekakasa ekisukkiridde. 17  Omuntu asunguwala amangu akola ebitali bya magezi,+Naye oyo alowooza ku ebyo by’agenda okukola* akyayibwa. 18  Abatalina bumanyirivu bajja kusikira obusirusiru,Naye ab’amagezi bajja kutikkirwa engule ey’okumanya.+ 19  Ababi bajja kuvunnamira abalungi,Era bajja kuvunnama ku miryango gy’abatuukirivu. 20  Omwavu ne banne bamukyawa,+Naye omugagga aba n’emikwano mingi.+ 21  Omuntu anyooma munne aba ayonoona,Naye asaasira omunaku aba musanyufu.+ 22  Abateesa okukola ebibi bajja kuwaba. Naye abaagala okukola ebirungi balagibwa okwagala okutajjulukuka era beesigibwa.+ 23  Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi,Naye okwogera obwogezi kyavuwaza.+ 24  Engule y’ab’amagezi bwe bugagga bwabwe;Naye obusirusiru bw’abatalina magezi busirusiru bwereere.+ 25  Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,Naye omujulizi ow’obulimba ayogera bulimba bwereere. 26  Omuntu atya Yakuwa amwesiga mu byonna,+Era n’abaana be bajja kuba n’obuddukiro.+ 27  Okutya Yakuwa nsulo ya bulamu,Kuwonya omuntu emitego gy’okufa. 28  Abantu abangi kye kitiibwa kya kabaka,+Naye omufuzi atalina b’afuga obuyinza bumuggwaako. 29  Omuntu alwawo okusunguwala aba mutegeevu,+Naye atali mugumiikiriza ayoleka obusirusiru bwe.+ 30  Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu,Naye obuggya buvunza amagumba.+ 31  Omuntu akumpanya omunaku anyiiza eyamutonda,+Naye asaasira omwavu agulumiza Katonda.+ 32  Omubi ebibi bye bijja kumuleetera okugwa,Naye omutuukirivu ajja kufuna obuddukiro mu bugolokofu bwe.+ 33  Amagezi gasirikira mu mutima gw’omuntu omutegeevu,+Naye geemanyisa mu basirusiru. 34  Obutuukirivu bugulumiza eggwanga,+Naye ekibi kiswaza abantu. 35  Kabaka asanyukira omuweereza we eyeeyisa mu ngeri ey’amagezi,+Naye asunguwalira nnyo oyo akola ebiswaza.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “amakyamu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “abasirusiru babuzaabuza abalala n’obusirusiru bwabwe.”
Oba, “ba kisa.”
Oba, “aba n’obusungu bungi.”
Oba, “alina obusobozi bw’okulowooza.”