Lukka 22:1-71

  • Bakabona bakola olukwe okutta Yesu (1-6)

  • Okuteekateeka Okuyitako okusembayo (7-13)

  • Omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe gutandikibwawo (14-20)

  • “Oyo agenda okundyamu olukwe atudde nange ku mmeeza” (21-23)

  • Bakaayana ani ku bo asinga obukulu (24-27)

  • Yesu akola endagaano y’Obwakabaka (28-30)

  • Peetero agambibwa nti ajja kwegaana Yesu (31-34)

  • Okuba abeetegefu; ebitala ebibiri (35-38)

  • Yesu asaba ng’ali ku Lusozi olw’Emizeyituuni (39-46)

  • Yesu akwatibwa (47-53)

  • Peetero yeegaana Yesu (54-62)

  • Yesu asekererwa (63-65)

  • Awozesebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu (66-71)

22  Awo Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, eyitibwa Okuyitako,+ yali eneetera okutuuka.+  Bakabona abakulu n’abawandiisi baali banoonya engeri ennungi gye bayinza okumuttamu+ kubanga baali batya abantu.+  Awo Sitaani n’ayingira mu Yuda, oyo ayitibwa Isukalyoti, omu ku Kkumi n’Ababiri,+  n’agenda eri bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba yeekaalu, n’ateesa nabo engeri gy’anaamuwaayo gye bali.+  Ne basanyuka era ne bakkiriza okumuwa ssente eza ffeeza.+  Awo n’akkiriza era n’atandika okunoonya engeri y’okumulyamu olukwe ng’ekibiina ky’abantu tekiriiwo.  Awo olunaku lw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, kwe baaweerangayo ssaddaaka ey’embaga ey’Okuyitako, ne lutuuka;+  awo Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti: “Mugende mututegekere embaga ey’Okuyitako, tugirye.”+  Ne bamubuuza nti: “Oyagala tugitegekere wa?” 10  N’abagamba nti: “Bwe munaayingira mu kibuga, mujja kusanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi. Mumugoberere, muyingire mu nnyumba gy’anaayingiramu,+ 11  mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza akugambye nti: “Ekisenge ky’abagenyi mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange kiri ludda wa?”’ 12  Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke, era eyo gye muba mututegekera.” 13  Ne bagenda, ne basanga nga byonna biringa bwe yali abagambye, ne bategeka embaga ey’Okuyitako. 14  Ekiseera bwe kyatuuka, n’atuula ku mmeeza wamu n’abatume be.+ 15  N’abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya nammwe Okuyitako kuno nga sinnaba kubonyaabonyezebwa; 16  kubanga mbagamba nti siriddamu kulya Kuyitako nate okutuusa lwe kulituukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda.” 17  Awo n’akwata ekikopo, ne yeebaza, n’agamba nti: “Mukwate, buli omu akiweereze munne, 18  kubanga mbagamba nti okuva leero, sigenda kuddamu kunywa ku mwenge gwa muzabbibu okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” 19  Era n’akwata omugaati,+ ne yeebaza, n’agumenyamu, n’agubawa ng’agamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange+ ogugenda okuweebwayo ku lwammwe.+ Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”+ 20  Era n’akola bw’atyo ne ku kikopo nga bamaze okulya eky’ekiro, n’agamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya+ ekoleddwa olw’omusaayi gwange+ ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.+ 21  “Laba! oyo agenda okundyamu olukwe atudde nange ku mmeeza.+ 22  Mazima ddala, Omwana w’omuntu agenda nga bwe kyategekebwa;+ wadde bwe kityo bwe kiri, zisanze omusajja oyo amulyamu olukwe!”+ 23  Awo ne batandika okwebuuza bokka na bokka ani ku bo eyali agenda okumulyamu olukwe.+ 24  Kyokka ne batandika n’okukaayana ennyo ani ku bo eyali atwalibwa okuba nga y’asinga obukulu.+ 25  Naye n’abagamba nti: “Bakabaka b’amawanga bakajjala ku bantu, n’abo abalina obuyinza ku mawanga bayitibwa Bayambi.+ 26  Kyokka tekirina kuba bwe kityo mu mmwe.+ Naye omukulu mu mmwe abeere ng’asembayo obuto,+ n’oyo akulembera abalala abeere ng’omuweereza waabwe. 27  Ani asinga obukulu, oyo aba atudde ku mmeeza* oba oyo aweereza? Si oyo aba atudde ku mmeeza?* Naye nze ndi wakati mu mmwe ng’omuweereza.+ 28  “Naye mmwe abatanjabulidde+ nga ngezesebwa;+ 29  era nkola nammwe endagaano ey’obwakabaka, nga Kitange bwe yakola nange endagaano ey’obwakabaka,+ 30  musobole okuliira n’okunywera ku mmeeza yange mu Bwakabaka bwange,+ era mutuule ku ntebe ez’obwakabaka+ okulamula ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.+ 31  “Simooni, Simooni, laba! Sitaani asabye okubakuŋŋunta mmwenna ng’eŋŋaano.+ 32  Naye nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo;+ era bw’olimala okukomawo, onywezanga baganda bo.”+ 33  Awo n’amugamba nti: “Mukama wange, ndi mwetegefu okugenda naawe mu kkomera era n’okufa naawe.”+ 34  Naye n’amugamba nti: “Peetero nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima leero ojja kuba omaze okunneegaana emirundi esatu.”+ 35  Era n’abagamba nti: “Bwe nnabatuma nga temulina nsawo eteekebwamu ssente n’ensawo omuba eby’okulya, era nga temulina ngatto,+ waliwo kye mwajula?” Ne baddamu nti: “Nedda.” 36  Awo n’abagamba nti: “Naye kati, oyo alina ensawo eteekebwamu ssente agitwale, n’oyo alina ensawo omuba eby’okulya agitwale; era n’oyo atalina kitala atunde ekyambalo kye eky’okungulu akigule. 37  Kubanga mbagamba nti ekyawandiikibwa ekigamba nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’+ kirina okutuukirira ku nze. Ebyo ebyampandiikibwako kati bituukirira.”+ 38  Ne bamugamba nti: “Mukama waffe, laba! waliwo ebitala bibiri.” N’abagamba nti: “Bimala.” 39  Bwe yafuluma, n’agenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni ng’empisa ye bwe yali, era abayigirizwa be ne bamugoberera.+ 40  Bwe yatuukayo, n’abagamba nti: “Musabe, muleme okugwa nga mukemeddwa.”+ 41  N’atambulako akabanga katono okuva we baali, n’afukamira, n’atandika okusaba, 42  ng’agamba nti: “Kitange, bw’oba oyagala nzigyaako ekikopo kino. Naye kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.”+ 43  Awo malayika n’ava mu ggulu n’amulabikira, n’amuzzaamu amaanyi.+ 44  Naye olw’okuba yali anyolwa nnyo, yeeyongera okusaba ennyo,+ era entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi agatonnya ku ttaka. 45  Bwe yamala okusaba, n’agenda abayigirizwa be we baali, n’abasanga nga beebase, nga baweddemu amaanyi olw’ennaku.+ 46  N’abagamba nti: “Lwaki mwebase? Muzuukuke musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.”+ 47  Bwe yali akyayogera, laba! ekibiina ky’abantu ne kijja, nga kikulembeddwa Yuda, omu ku Kkumi n’Ababiri, era n’ajja awaali Yesu okumunywegera.+ 48  Naye Yesu n’amugamba nti: “Yuda, Omwana w’omuntu omulyamu olukwe ng’omunywegera?” 49  Abo abaali naye bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tukozese ebitala byaffe?” 50  Omu ku bo n’akozesa ekitala kye yalina n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu okwa ddyo.+ 51  Naye Yesu n’agamba nti: “Mukome ku ekyo.” N’amukwata ku kutu, n’amuwonya. 52  Awo Yesu n’agamba bakabona abakulu n’abakulu b’abakuumi ba yeekaalu, era n’abakadde abaali bazze okumukwata nti: “Muzze n’ebitala n’emiggo okunkwata ng’abakwata omubbi?+ 53  Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu+ kyokka temwankwata.+ Naye kino kye kiseera kyammwe n’obuyinza bw’ekizikiza.”+ 54  Awo ne bamukwata, ne bamutwala+ mu nnyumba ya kabona asinga obukulu, naye Peetero n’abagoberera ng’abeesuddeko akabanga.+ 55  Bwe baakuma omuliro wakati mu luggya ne batuula wamu, Peetero naye n’atuula wamu nabo.+ 56  Naye omuwala omu omuweereza bwe yamulaba ng’atudde awali ekitangaala ky’omuliro, n’amwekaliriza n’agamba nti: “N’omusajja ono yali wamu naye.” 57  Naye Peetero ne yeegaana ng’agamba nti: “Simumanyi.” 58  Nga wayiseewo akaseera katono omuntu omulala yamulaba, n’agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n’agamba nti: “Siri omu ku bo.”+ 59  Bwe waayitawo essaawa ng’emu, omuntu omulala n’alumiriza nnyo ng’agamba nti: “Mazima ddala omusajja ono yali naye kubanga Mugaliraaya!” 60  Naye Peetero n’agamba nti: “Musajja ggwe, simanyi by’oyogera.” Bwe yali akyayogera, amangu ago enkoko n’ekookolima. 61  Awo Mukama waffe n’akyuka, n’atunuulira Peetero, Peetero n’ajjukira Mukama waffe bye yali amugambye nti: “Enkoko bw’eneeba tennakookolima leero, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ 62  N’afuluma wabweru, n’akaaba nnyo. 63  Awo abasajja abaali bakutte Yesu ne batandika okumusekerera,+ era ne bamukuba;+ 64  era bwe baamala okumubikka ku maaso, ne bamugamba nti: “Bw’oba oli nnabbi, tubuulire ani akukubye?” 65  Era ne boogera ebintu ebirala bingi nga bamuvvoola. 66  Awo obudde bwe bwakya, ekibinja ky’abakadde, kwe kugamba, bakabona abakulu n’abawandiisi, ne bakuŋŋaana,+ ne bamutwala mu kisenge Olukiiko Olukulu mwe lutuula ne bamugamba nti: 67  “Bw’oba nga ggwe Kristo, tubuulire.”+ Naye n’abagamba nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukikkiriza. 68  Era ne bwe nnaababuuza, temujja kunziramu. 69  Naye okuva leero, Omwana w’omuntu+ ajja kutuula ku mukono gwa Katonda ogw’amaanyi ogwa ddyo.”+ 70  Awo bonna ne bagamba nti: “Ky’ogamba oli Mwana wa Katonda?” N’abagamba nti: “Mmwe mmwenyini mukyogedde nti ndi Mwana wa Katonda.” 71  Ne bagamba nti: “Lwaki twetaaga obujulizi obulala? Ffe kennyini tukiwulidde okuva mu kamwa ke.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “oyo aba alya.”
Oba, “oyo aba alya.”