Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwejjukanya Ekitundu 2

Okwejjukanya Ekitundu 2

Kubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga n’omusomesa wo:

  1. Kiki Katonda ky’anaakola amadiini ag’obulimba?

    (Laba Essomo 13.)

  2. Soma Okuva 20:4-6.

    • Yakuwa awulira atya abantu bwe bakozesa ebifaananyi mu kusinza?

      (Laba Essomo 14.)

  3. Yesu y’ani?

    (Laba Essomo 15.)

  4. Ngeri ki Yesu z’alina z’osinga okwagala?

    (Laba Essomo 17.)

  5. Soma Yokaana 13:34, 35 ne Ebikolwa 5:42.

    • Abakristaayo ab’amazima be baani leero? Kiki ekikukakasa nti be Bakristaayo ab’amazima?

      (Laba Essomo 18 ne 19.)

  6. Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo y’ani, era akikulembera atya?

    (Laba Essomo 20.)

  7. Soma Matayo 24:14.

    • Obunnabbi obwo butuukirizibwa butya leero?

    • Baani b’obuuliddeko amawulire amalungi?

      (Laba Essomo 21 ne 22.)

  8. Olowooza kiba kirungi omuntu okuba n’ekiruubirirwa eky’okubatizibwa? Lwaki ogamba bw’otyo?

    (Laba Essomo 23.)

  9. Oyinza otya okwekuuma Sitaani ne badayimooni?

    (Laba Essomo 24.)

  10. Katonda yalina kigendererwa ki okututonda?

    (Laba Essomo 25.)

  11. Lwaki abantu babonaabona era bafa?

    (Laba Essomo 26.)

  12. Soma Yokaana 3:16.

    • Kiki Yakuwa kye yakola okusobola okutununula okuva mu kibi n’okufa?

      (Laba Essomo 27.)

  13. Soma Omubuulizi 9:5.

    • Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

    • Kiki Yesu ky’ajja okukolera abantu bukadde na bukadde abaafa?

      (Laba Essomo 29 ne 30.)

  14. Lwaki Obwakabaka bwa Katonda businga gavumenti z’abantu?

    (Laba Essomo 31 ne 33.)

  15. Okikkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga? Lwaki ogamba bw’otyo? Bwatandika ddi okufuga?

    (Laba Essomo 32.)