Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUSANVU

“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”

“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”

1, 2. (a) Bigambo ki omugenyi bye yayogera ng’abuuza Maliyamu? (b)Kusalawo ki Maliyamu kwe yali ayolekaganye nakwo?

MALIYAMU yatunuulira omugenyi eyali azze ewaabwe. Omugenyi oyo yali tazze kulaba bazadde be wabula yali azze kulaba ye! Singa omugenyi oyo yali abeera mu Nazaaleesi, oboolyawo Maliyamu yandibadde amumanyi, kubanga Nazaaleesi kaali kabuga katono. Omugenyi oyo yabuuza Maliyamu mu ngeri etaali ya bulijjo. Yamugamba nti: “Emirembe gibe naawe, ggwe asiimibwa ennyo; Yakuwa ali naawe.”Soma Lukka. 1:26-28.

2 Awo nno Bayibuli w’etandikira okututegeeza ebikwata ku Maliyamu, muwala wa Keri, ow’omu kabuga k’e Nazaaleesi, ak’omu Ggaliraaya. Mu kiseera ekyo Maliyamu yali ayolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi. Yali ayogerezebwa omusajja omubazzi eyali ayitibwa Yusufu. Yusufu teyali mugagga naye yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda. Kale nno Maliyamu yali akimanyi nti mu kiseera kitono yali agenda kufumbirwa Yusufu, batandike amaka. Naye ate agenda okuwulira ng’omugenyi ono amugamba nti Katonda yalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yali amuwadde.

3, 4. Okusobola okutegeera ekituufu ku Maliyamu biki bye tulina okwesamba?

3 Bangi beewuunya okulaba nti Bayibuli terina bingi by’etutegeeza ku Maliyamu. Etubuulirako katono ku buzaale bwe n’engeri ze, naye tetutegeeza bwe yali afaanana. Naye wadde nga Bayibuli terina bingi by’etubuulira ku Maliyamu, ebyo ebitonotono by’etubuulirako bituyamba okumutegeera.

4 Bwe tuba twagala okutegeerera ddala ekituufu ku Maliyamu, waliwo ebintu ebiyigirizibwa mu madiini agamu bye tulina okwesambira ddala. Tetusaanidde kulowooza nti yali afaanana nga bangi bwe bagezaako okumufaananya mu bifaananyi bye babumba oba bye basiiga. N’ebitiibwa bangi bye bamuteekako, gamba ng’eky’okumuyita “Nnyina Katonda” oba “Nnamasole ow’Omu Ggulu,” tuba tulina okubiggira ddala mu birowoozo byaffe. Nga tumaze okukola ekyo, tuba tulina okwekenneenya ebyo Bayibuli by’emwogerako. Bayibuli etulaga engeri Maliyamu gye yayolekamu okukkiriza era n’ebyo bye tusobola okumuyigirako.

Malayika Amukyalira

5. (a) Okuba nti Maliyamu yeewuunya era “n’asoberwa” olw’engeri Gabulyeri gye yamulamusaamu, kitulaga ki? (b) Kyakulabirako ki ekirungi Maliyamu kye yatuteerawo?

5 Omugenyi eyakyalira Maliyamu teyali muntu, wabula yali malayika ayitibwa Gabulyeri. Gabulyeri bwe yalamusa Maliyamu n’ebigambo nti “ggwe asiimibwa ennyo,” Maliyamu yeewuunya nnyo era “n’asoberwa.” (Luk. 1:29) Ani eyali amusiima? Eky’okuba nti yali asiimibwa abantu kyali tekimujjirangako mu birowoozo. Naye malayika yali tategeeza nti yali asiimibwa bantu, wabula nti Yakuwa Katonda ye yali amusiima. Wadde nga Maliyamu yali ayagala nnyo okubeera ng’asiimibwa Katonda, yali teyeetwala nti yali muntu asiimibwa ennyo. Mu nsonga eyo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Katonda tayagala bantu ba malala; abo abooleka obuwombeefu b’ayagala era b’ayamba.Yak. 4:6.

Maliyamu yali teyeetwala nti yali muntu asiimibwa Katonda

6. Nkizo ki Maliyamu gye yali agenda okufuna?

6 Obwetoowaze Maliyamu yali abwetaagira ddala kubanga enkizo eyali egenda okumuweebwa yali ya maanyi nnyo ddala. Malayika yamugamba nti yali agenda kuzaala omwana eyali agenda okubeera ow’ekitiibwa okusinga abantu bonna. Gabulyeri yamugamba nti: “Ono aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo; era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, era alifuga nga kabaka ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Luk. 1:32, 33) Maliyamu ateekwa okuba nga yali yawulirako nti Katonda yali yasuubiza nti omu ku bazzukulu ba Dawudi yali ajja kufuga emirembe gyonna. (2 Sam. 7:12, 13) Omwana oyo gwe yali agenda okuzaala ye yali ajja okuba Masiya, abantu ba Katonda gwe baali balindirira!

Malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti yali agenda kuweebwa enkizo ey’amaanyi ennyo

7. (a) Ekibuuzo Maliyamu kye yabuuza malayika kitulaga ki ku Maliyamu? (b) Kiki abavubuka kye bayinza okuyigira ku Maliyamu?

7 Malayika era yagamba Maliyamu nti omwana gwe yali agenda okuzaala yali ajja kuyitibwa “Mwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo.” Naye omuntu obuntu yandisobodde atya okuzaala Omwana wa Katonda? N’ekirala, Maliyamu eyali tannafumbirwa, ng’akyayogerezebwa bwogerezebwa, yandisobodde atya okuba olubuto? Ekyo Maliyamu yakibuuza malayika. Yamugamba nti: “Kino kirisoboka kitya nga seegattangako na musajja?” (Luk. 1:34) Weetegereze nti Maliyamu yali takitwala nga kiswaza okugamba malayika nti yali akyali mbeerera, wabula yali akyenyumiririzaamu nnyo. Leero abavubuka bangi eky’okuba embeerera oba enteeka tebakitwala nga kikulu, era batera n’okuvumirira abo ababa beekuumye. Mu butuufu, ensi ekyuse nnyo, naye Yakuwa ye takyuka. (Mal. 3:6) Nga bwe kyali mu biseera bya Maliyamu, na kati Yakuwa asanyuka bw’alaba abo abanywerera ku mitindo gye egy’empisa.Soma Abebbulaniya 13:4.

8. Wadde nga Maliyamu yali tatuukiridde, yandisobodde atya okuzaala omwana atuukiridde?

8 Wadde nga Maliyamu yali mwesigwa eri Katonda, yali tatuukiridde. Kati olwo yandisobodde atya okuzaala omwana atuukiridde, Omwana wa Katonda? Gabulyeri yamugamba nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubaako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.” (Luk. 1:35) Ekintu ekitukuvu kiba “kirongoofu.” Mu mbeera eya bulijjo, omwana asikira obutali butuukirivu bw’abazadde be. Kyokka Yakuwa yali agenda kukola ekyamagero. Yali agenda kuddira obulamu bw’Omwana we eyali mu ggulu abuteeke mu lubuto lwa Maliyamu. Era yali agenda kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okusiikiriza Maliyamu, omwana oyo aleme kubaako kibi kisikire. Maliyamu yakkiriza ebyo malayika bye yamugamba?

Maliyamu Kye Yaddamu Gabulyeri

9. (a) Lwaki abo abatakkiriza nti ekyo malayika kye yagamba Maliyamu kisoboka bakyamu? (b) Kiki Gabulyeri kye yagamba Maliyamu ekyanyweza okukkiriza kwe?

9 Abakenkufu bangi, nga mw’otwalidde n’abo ab’omu Kristendomu, kibazibuwalira okukkiriza nti omukazi embeerera yali asobola okufuna olubuto nga teyeegasse na musajja. Wadde nga bayivu nnyo, balemwa okutegeera ekintu ekyangu ennyo. Nga Gabulyeri bwe yagamba, “eri Katonda, tewali kigambo kitayinza kutuukirira.” (Luk. 1:37) Maliyamu yakkiriza ebigambo bya Gabulyeri olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. Kyokka ekyo tekitegeeza nti yali amala gakkiriza. Okusobola okukkiriza ebyo ebyali bimugambiddwa, Maliyamu yali alina okubaako ky’asinziirako okubikkiriza. Ekyo yakifuna Gabulyeri bwe yamugamba nti Erizabeesi, omu ku b’eŋŋanda ze eyali omugumba, Katonda yali amukoledde eky’amagero n’amusobozesa okufuna olubuto!

10. Lwaki tetusaanidde kulowooza nti obuvunaanyizibwa Maliyamu bwe yaweebwa bwali bwangu?

10 Kati Maliyamu yali agenda kukola atya? Obuvunaanyizibwa bwe yali aweereddwa yali amaze okubutegeera era ng’aweereddwa n’obukakafu obulaga nti Katonda yali agenda kutuukiriza ebyo byonna Gabulyeri bye yali amugambye. Kyokka era tekyali kyangu eri Maliyamu okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno. Tulina okukijjukira nti Maliyamu yali ayogerezebwa Yusufu. Yusufu yandikkirizza okumuwasa bwe yandikitegedde nti ali lubuto? Ate n’ekirala oyo gwe yali agenda okwetikka mu lubuto ye yali Omwana Katonda gw’asingirayo ddala okwagala! Ng’amaze okumuzaala yali alina okumulabirira obulungi n’okumukuuma mu nsi eno embi. Obwo nga bwali buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo!

11, 12. (a) Abaweereza ba Katonda abamu abeesigwa ennyo baakola ki nga Katonda aliko obuvunaanyizibwa bw’abawadde? (b) Ebigambo Maliyamu bye yayogera ng’addamu Gabulyeri byalaga ki?

11 Abaweereza ba Yakuwa abamu abaali abeesigwa ennyo baatya okwetikka obuvunaanyizibwa bwe yali abawadde. Musa yeewolereza nti yali tasobola kwogera bulungi. (Kuv. 4:10) Yeremiya yeekwasa nti yali akyali “mwana muto,” era nga n’olw’ensonga eyo yali tajja kusobola kukola mulimu Katonda gwe yali amuwadde. (Yer. 1:6) Ate ye Yona yadduka buddusi! (Yon. 1:3) Ye Maliyamu yakola ki?

12 Ebigambo bye ebyoleka obwetoowaze na kati bikyajjukirwa. Yagamba Gabulyeri nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.” (Luk. 1:38) Omuzaana yabeeranga muweereza wa wansi nnyo ddala; obulamu bwe bwabanga mu mikono gya mukama we. Bw’atyo Maliyamu bwe yali yeetwalira ddala okuba mu maaso ga Mukama we, Yakuwa. Yalina obwesige nti Yakuwa yandimukuumye era n’amuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi, kubanga mwesigwa eri abo abeesigwa gy’ali.Zab. 18:25, NW.

Maliyamu yali akimanyi nti Katonda we, Yakuwa, yali ajja kumuyamba

13. Tuyinza tutya okukoppa Maliyamu nga tuweereddwa obuvunaanyizibwa obuyinza okulabika ng’obuzibu ennyo okutuukiriza?

13 Katonda ayinza okutusaba okukola ekintu ne kitulabikira ng’ekizibu ennyo ddala oba ekitayinza na kukoleka. Kyokka, mu Kigambo kye atuwadde ensonga nnyingi ezisobola okutuleetera okumwesiga nga Maliyamu bwe yakola. (Nge. 3:5, 6) Naffe tunaamwesiga? Bwe tunaamwesiga, ajja kutuyamba okuzimba okukkiriza kwaffe kubeere kunywevu nnyo.

Maliyamu Akyalira Erizabeesi

14, 15. (a) Maliyamu bwe yakyalira Erizabeesi, kintu ki ekirala Yakuwa kye yakola ekyanyweza okukkiriza kwe? (b) Ebigambo ebiri mu Lukka 1:46-55 bitulaga ki ku Maliyamu?

14 Ebyo ebikwata ku Erizabeesi Gabulyeri bye yabuulira Maliyamu byamuzzaamu nnyo amaanyi. Maliyamu yakiraba nga Erizabeesi ye muntu eyali asobola okutegeera embeera gye yalimu, era bw’atyo mangu yakwata ekkubo n’agenda mu kitundu kya Yuda eky’ensozi Erizabeesi gye yali abeera. Olugendo olwo luyinza okuba nga lwamutwalira ennaku ssatu oba nnya. Bwe yali ayingira mu nnyumba ya Erizabeesi ne Zekkaliya kabona, Maliyamu yafuna obukakafu obulala obwayongera okunyweza okukkiriza kwe. Erizabeesi bwe yawulira eddoboozi lya Maliyamu, amangu ago omwana eyali mu lubuto lwe n’abuukabuuka olw’essanyu. Erizabeesi yajjula omwoyo omutukuvu n’ayita Maliyamu ‘nnyina wa Mukama we.’ Katonda yali abikkulidde Erizabeesi nti omwana eyali mu lubuto lwa Maliyamu yali ajja kuba Mukama we, Masiya. Ate era, yagamba Maliyamu nti: “Naawe eyakkiriza oli musanyufu.” (Luk. 1:39-45) Yee, ebintu byonna Yakuwa bye yali agambye Maliyamu byali bijja kutuukirira!

Maliyamu ne Erizabeesi baali ba mukwano, era buli omu yazzaamu munne amaanyi

15 Awo oluvannyuma Maliyamu naye yatandika okwogera. Bye yayogera byawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda. (Soma Lukka 1:46-55.) Ebigambo ebyo bituyamba okutegeera ebintu bingi ku Maliyamu. Mu bigambo bye ebyo yatendereza Yakuwa olw’okumuwa enkizo ey’okuba nnyina wa Masiya, era kino kiraga nti yali muntu asiima. Era yalaga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi, bwe yayogera nti Yakuwa afeebya ab’amalala n’ab’amaanyi era nti ayamba abantu aba wansi abaagala okuba abaweereza be. Ebigambo ebyo era biraga nti Maliyamu yali amanyi nnyo ebyawandiikibwa. Yajuliza ebyawandiikibwa ebisukka mu 20 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya! *

16, 17. (a) Maliyamu ne mutabani we baayoleka batya obwetoowaze? (b) Maliyamu okukyalira Erizabeesi kituyigiriza ki?

16 Kya lwatu nti Maliyamu yafumiitirizanga nnyo ku Kigambo kya Katonda. Yayoleka obwetoowaze n’ajuliza butereevu Ebyawandiikibwa mu kifo ky’okwogera obwogezi ye kye yali alowooza. Omwana eyali mu lubuto lwe naye oluvannyuma yayoleka obwetoowaze bwe yagamba nti: “Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma.” (Yok. 7:16) Kiba kirungi okwebuuza nti: ‘Nange nkiraga nti Ekigambo kya Katonda kye nkulembeza oba nkulembeza ndowooza zange?’ Maliyamu yayoleka endowooza entuufu.

17 Ewa Erizabeesi Maliyamu yamalayo emyezi ng’esatu, era awatali kubuusabuusa buli omu yazzaamu nnyo munne amaanyi. (Luk. 1:56) Okukyala okwo kwe tusomako mu Bayibuli kutuyamba okulaba obukulu bw’okuba n’emikwano egizimba. Mikwano gyaffe bwe baba baagala Katonda waffe, Yakuwa, kijja kutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo era n’enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okuba ey’oku lusegere. (Nge. 13:20) Ddaaki Maliyamu yasiibula n’adda eka. Yusufu yandimugambye ki bwe yanditegedde nti ali lubuto?

Maliyamu ne Yusufu

18. Kiki Maliyamu kye yategeeza Yusufu era Yusufu yawulira atya?

18 Kirabika Maliyamu teyalinda lubuto kumala kulabika alyoke abuulire Yusufu. Naye ateekwa okuba nga yali yeeraliikirira engeri amawulire ago gye gandiyisizzaamu Yusufu. Wadde kyali kityo, yamutuukirira n’amubuulira byonna, era tekyewuunyisa nti Yusufu yasoberwa nnyo. Yusufu yayagala okukkiriza ebyo Maliyamu bye yamugamba, naye oboolyawo ate n’alowooza nti yali ayenze. Bayibuli tetubuulira kiki ddala Yusufu kye yalowooza. Naye etugamba nti eby’okufumbiriganwa ne Maliyamu yali asazeewo okubireka, era nga kino yali agenda kukikola mu kyama, aleme kumuswaza. (Mat. 1:18, 19) Maliyamu kirina okuba nga kyamuluma nnyo okulaba Yusufu ng’anyolwa bw’atyo. Naye wadde kyali kityo, Maliyamu teyanenya Yusufu olw’obutakkiriza kye yamugamba.

19. Yakuwa yayamba atya Yusufu okumanya ekituufu eky’okukola?

19 Yakuwa yayamba Yusufu okumanya ekituufu eky’okukola. Okuyitira mu kirooto, malayika wa Katonda yamugamba nti olubuto Maliyamu lwe yalina yali alufunye mu ngeri ya kyamagero. Yusufu bwe yawulira ebyo, awo omutima ne gumukka. Okufaananako Maliyamu, naye yakkiriza okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Yawasa Maliyamu, n’amutwala ewuwe, era n’akkiriza obuvunaanyizibwa obw’okukuza Omwana wa Yakuwa.Mat. 1:20-24.

20, 21. Biki abafumbo n’abo abateekateeka okuyingira obufumbo bye basobola okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu?

20 Waliwo ebintu abafumbo awamu n’abo abasuubira okuyingira obufumbo bye basobola okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu. Yusufu ateekwa okuba nga yasanyukanga nnyo okulaba engeri mukyala we gye yali alabiriramu obulungi omwana gwe yali azadde, era ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo olw’okuba yali akoledde ku bulagirizi bwa malayika. Yusufu yategeera bulungi obukulu bw’okugoberera Yakuwa ky’agamba nga tuliko bye twagala okusalawo. (Zab. 37:5; Nge. 18:13) Awatali kubuusabuusa yeeyongera okuba omwegendereza era n’okulaga ekisa ng’aliko by’asalawo ng’omutwe gw’amaka.

21 Ate eky’okuba nti Maliyamu yakkiriza okufumbirwa Yusufu wadde nga Yusufu yali asoose kumubuusabuusa tukiyigirako ki? Wadde nga mu kusooka Yusufu yakisanga nga kizibu okukkiriza ebigambo bye, Maliyamu yalindirira okulaba eky’enkomerero Yusufu kye yandisazeewo, kuba yali akimanyi nti Yusufu ye yali agenda okuba omutwe gw’amaka. Mu kukola ekyo Maliyamu yateerawo abakazi Abakristaayo eky’okuyiga ekirungi. Ebyaliwo ebyo byayamba Yusufu ne Maliyamu okutegeerera ddala bwe kiri ekikulu ennyo okuba n’empuliziganya ennungi.Soma Engero 15:22.

22. Yusufu ne Maliyamu obufumbo bwabwe baabutandikira ku musingi gwa ngeri ki, era buvunaanyizibwa ki bwe baali bagenda okwetikka?

22 Awatali kubuusabuusa Yusufu ne Maliyamu obufumbo bwabwe baabutandikira ku musingi omunywevu. Bombi baali baagala nnyo Yakuwa Katonda era nga baagala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde. Baali bagenda kufuna emikisa mingi, naye era baali bajja kwolekagana n’ebigezo eby’amaanyi. Baali bagenda kukuza Yesu, eyali ajja okuba omuntu asingayo ekitiibwa n’ettutumu mu bantu bonna abaali babaddewo ku nsi.

^ lup. 15 Kirabika nga Maliyamu yajuliza ne ku bigambo Kaana bye yayogera. Kaana yali mukazi mwesigwa, era naye Yakuwa yali amusobozesezza okuzaala omwana mu ngeri ey’ekyamagero.—Laba akasanduuko, “Essaala Ebbiri Ennungi Ennyo,” mu Ssuula 6.