Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Essaala Zaffe Za Muwendo Nnyo eri Yakuwa

Essaala Zaffe Za Muwendo Nnyo eri Yakuwa

Bwe tusaba Yakuwa mu ngeri gy’asiima, essaala zaffe ziba ng’obubaani obwanyookerezebwanga mu maaso ga Yakuwa ku yeekaalu. (Zb 141:2) Bwe tubuulira Kitaffe ow’omu ggulu nti tumwagala nnyo era nti tusiima by’atukolera, bwe tumubuulira ebitweraliikiriza n’ebyo bye twagala, era ne tumusaba atuwe obulagirizi, tuba tukiraga nti enkolagana yaffe naye tugitwala nga ya muwendo. Kyo kituufu nti n’essaala ennyimpimpi ze tusaba mu nkuŋŋaana zaffe Yakuwa azisiima, era azitwala nga nkulu nnyo. Kyokka, kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa singa mu ssaala zaffe kinnoomu tumweyabiza okumala ekiseera kiwanvu.​—Nge 15:8.

MULABE VIDIYO, NJAGALA NNYO OKUSABA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Nkizo ki ow’Oluganda Johnson z’afunye mu buweereza bwe eri Yakuwa?

  • Ow’Oluganda Johnson akiraze atya nti okusaba akutwala nga kintu kikulu nnyo mu bulamu bwe?

  • Kiki ky’oyigidde ku w’Oluganda Johnson?