Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU

Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula

Okwemanyiiza Okukola Ebintu Ebikuganyula
  • AKADE k’essaawa bwe kavuga, Austin awulira ng’akyalimu otulo. Naye ava mangu mu buliri, n’ayambala engoye ze z’akoleramu dduyiro ze yategese eggulo limu, era n’agenda okudduka. Bw’atyo bw’abaddenga akola emirundi esatu buli wiiki okumala omwaka mulamba.

  • Laurie yaakamala okuyomba n’omwami we. Agenda mu ffumbiro nga musunguwavu n’asikayo ekiveera kya swiiti mu kabada n’amunuuna yenna. Bw’atyo bw’akola buli lwe wabaawo ekiba kimunyiizizza.

Kiki Austin ne Laurie kye bafaanaganya? Ka kibe nti bakimanyi oba nedda, bombi balina ekintu kye beemanyiiza okukola oba omuze.

Ate ggwe? Waliwo ebintu ebirungi bye wandyagadde okwemanyiiza okukola? Oboolyawo wandyagadde okukolanga dduyiro obutayosa, okwebaka ekimala, oba okuwuliziganyanga n’abantu bo.

Ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’olina omuze gwe wandyagadde okweggyako, gamba ng’okunywa ssigala, okulya ennyo emmere etali nnungi eri obulamu bwo, oba okumalira ebiseera ebingi ku Intaneeti.

Ekituufu kiri nti, si kyangu kweggyamu muze mubi. Omuze omubi guyinza okugeraageranyizibwa ku buliri obulimu akabugumu mu budde obw’empewo: kiba kyangu okubuyingira naye kizibu okubuvaamu!

Kati olwo oyinza otya okweggyamu emize emibi ate ne weemanyiiza okukola ebintu ebikuganyula? Lowooza ku magezi ga mirundi esatu ageesigamiziddwa ku Bayibuli.