Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso

Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso

Wali weebuuzizzaako ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Bayibuli etubuulira ebintu ebikulu ebinaatera okubaawo era ebijja okukwata ku bantu bonna.

Yesu yatubuulira engeri gye twanditegeddemu nti “Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” (Lukka 21:31) Yagamba nti wandibaddewo entalo, musisi, enjala, n’endwadde, era ebyo bye bintu bye tulaba leero.​—Lukka 21:10-17.

Bayibuli eraga nti mu “nnaku ez’enkomerero” ez’obufuzi bw’abantu, abantu bandibadde beeyisa bubi. Osobola okusoma ku ngeri gye bandibadde beeyisaamu mu 2 Timoseewo 3:1-5. Awatali kubuusabuusa, bw’olaba ng’abantu beeyisa bwe batyo, okiraba nti obunnabbi bwa Bayibuli obwo butuukirizibwa leero.

Ekyo kiba kiraga ki? Ekiseera kinaatera okutuuka Obwakabaka bwa Katonda buleetewo enkyukakyuka ez’amaanyi ezijja okutereeza obulamu bw’abantu ku nsi. (Lukka 21:36) Mu Bayibuli, Katonda asuubiza okutereeza ensi n’okukolera abantu abanaagibeerako ebintu ebirungi. Bino bye bimu ku by’ajja okukola.

OBUFUZI OBULUNGI

“[Yesu] n’aweebwa obufuzi, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga. Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.”​DANYERI 7:14.

Kye kitegeeza: Ojja kunyumira obulamu ng’ofugibwa gavumenti ya Katonda ejja okufuga ensi yonna era ng’Omwana wa Katonda ye mufuzi waayo.

OBULAMU OBULUNGI

“Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde’”​ISAAYA 33:24.

Kye kitegeeza: Tojja kulwala oba kufuna bulemu bwonna; ojja kuba osobola okubeerawo emirembe gyonna.

EMIREMBE EMINGI

“Amalawo entalo mu nsi yonna.”​ZABBULI 46:9.

Kye kitegeeza: Tewajja kuddamu kubeerawo ntalo na kubonaabona.

ENSI EJJA KUJJULA ABANTU ABALUNGI

“Ababi tebalibaawo . . . Abawombeefu balisikira ensi.”​ZABBULI 37:10, 11.

Kye kitegeeza: Tewajja kubaawo bantu babi naye abo bokka abagondera Katonda be bajja okubeera ku nsi.

ENSI YONNA EJJA KUFUUKA OLUSUKU LWA KATONDA

“Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.”​ISAAYA 65:21, 22.

Kye kitegeeza: Ensi yonna ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi. Katonda ajja kutuukiriza ekyo kye tusaba nti by’ayagala bikolebwe “ku nsi.”​—Matayo 6:10.