Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nga munnabizineesi bw’akozesa omuwandiisi we, ne Katonda yakozesa abamu ku basajja abeesigwa okuwandiika Ebyawandiikibwa Ebitukuvu

Engeri Omutonzi gy’Atutuusaako Obubaka Bwe

Engeri Omutonzi gy’Atutuusaako Obubaka Bwe

Okuviira ddala ng’omuntu yaakatondebwa, Katonda yatuusanga obubaka bwe ku bantu ng’ayitira mu bamalayika ne bannabbi. Ate era, yasalawo okuteeka obubaka bwe n’ebisuubizo bye mu buwandiike. Ebisuubizo bya Katonda ebyo bikwata ku biseera byo eby’omu maaso. Wa we tusobola okusanga ebisuubizo bya Katonda?

Obubaka bwa Katonda eri abantu busangibwa mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. (2 Timoseewo 3:16) Katonda yakozesa bannabbi okuwandiika obubaka bwe. Ekyo yakikola atya? (2 Peetero 1:21) Yateeka obubaka bwe mu birowoozo by’abawandiisi ne babuwandiika. Ekyo tuyinza okukigeraageranya ku munnabizineesi agamba omuwandiisi we okumuwandiikira ebbaluwa. Obubaka obubeera mu bbaluwa eyo buba bwa munnabizineesi, so si muwandiisi we. Mu ngeri y’emu, wadde nga Katonda yakozesa abantu okuwandiika Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, obubaka obubirimu bubwe.

EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU BIBUNYISIDDWA MU NSI YONNA

Olw’okuba obubaka bwa Katonda bukulu nnyo, ayagala abantu bonna babumanye era babutegeere. Leero, “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe” agava eri Katonda gatuuse eri “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.” (Okubikkulirwa 14:6) Katonda asobozesezza Ebyawandiikibwa Ebitukuvu okuvvuunulwa mu nnimi ezisukka mu 3,000. Tewali kitabo kirala kyonna kivvuunuddwa mu nnimi ennyingi bwe zityo.