Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | SAALA

Katonda Yamuyita “Omumbejja”

Katonda Yamuyita “Omumbejja”

SAALA yakutaamulukuka n’atunula emitala. Abakozi be bonna baali bakakkalabya emirimu gyabwe era nga balabika basanyufu. Saala naye yaliko by’akola. Kuba akafaananyi ng’omulaba anyigaanyiga omukono ogwali gumufuuyirira. Oboolyawo yali ava kuddaabiriza weema mwe baali basula. Olugoye lwa weema olwakolebwa mu byoya by’endiga lwali lukaddiye olw’okwokebwa omusana n’okukubibwa enkuba, era oboolyawo lwamujjukizanga nti baali bamaze ekiseera kiwanvu nga babeera mu weema. Enjuba yali enaatera okugwa. Omwami we Ibulayimu * yali akedde kugenda, era yali amusuubira okukomawo ekiseera kyonna. Bwe yayimusa amaaso n’amulengera ng’ajja, yafuna akamwenyumwenye ku matama.

Waali wayiseewo emyaka kkumi okuva Ibulayimu n’ab’omu maka ge lwe baasomoka Omugga Fulaati ne bagenda e Kanani. Saala yakkiriza okugenda n’omwami we mu nsi gye baali batamanyi, kubanga yali akimanyi nti Yakuwa yali yasuubizza okuwa Ibulayimu ezzadde era n’okumufuula eggwanga eddene. Saala yalina kifo ki mu kutuukiriza ekyo? Yali mugumba, ate nga mu kiseera ekyo yali aweza emyaka 75. Ateekwa okuba nga yeebuuza nti, ‘Ekisuubizo kya Yakuwa kinaatuukirira kitya nga ndi mugumba?’ Bw’aba nga yeebuuza ekibuuzo ng’ekyo, tekyewuunyisa.

Naffe oluusi tuyinza okwebuuza nti, ‘Ebisuubizo bya Katonda birituukirira ddi?’ Si kyangu kugumiikiriza, nnaddala nga tulindirira ekintu kye twagala ennyo naye nga kiruddewo okutuuka. Tuyinza tutya okukoppa okukkiriza kwa Saala?

“YAKUWA ANZIYIZZA OKUZAALA”

Ibulayimu n’ab’omu maka ge baali baakava e Misiri. (Olubereberye 13:1-4) Mu kiseera ekyo baali babeera mu kitundu eky’ensozi ebuvanjuba wa Beseri oba Luuzi, ng’Abakanani bwe baali bakiyita, era nga Saala asobola okulengera Ensi Ensuubize. Yali alengera ebyalo by’Abakanani, n’enguudo abantu mwe baayitanga. Kyokka tewaaliwo kitundu mu nsi eyo ekyali kikulaakulanye okutuuka ku kibuga Uli, Saala gye yakulira. Okuva awo we baali okutuuka e Uli waaliwo mayiro 1,200. Ekibuga Uli kyalimu obutale n’amaduuka, era n’ennyumba gye baabeerangamu yali nnene ddala, oboolyawo ng’erimu n’amazzi ag’emidumu. N’ab’eŋŋanda ze yali yabaleka eyo. Kyokka omukyala oyo eyali atya Katonda yali talowooza ku bintu ebyo ebirungi bye yali alese mu kibuga Uli.

Nga wayiseewo emyaka nga 2,000, omutume Pawulo alina kye yayogera ku kukkiriza kwa Saala ne Ibulayimu. Yagamba nti: “Singa bajjukiranga ekifo gye baava bandibadde bafuna akakisa okuddayo.” (Abebbulaniya 11:8, 11, 15) Ibulayimu ne Saala tebaalowooza ku bye baaleka emabega. Singa baabirowoozaako, osanga bandizzeeyo mu kibuga Uli gye baava. Kyokka tebandifunye nkizo Katonda gye yabawa, era bandibadde beerabirwa dda.

Mu kifo ky’okulowooza ku bye yaleka emabega, Saala ebirowoozo yabissa ku bya mu maaso. Yeeyongera okuwagira omwami we ku lugendo lwe baaliko. Yamuyambanga mu kusengula ebintu gamba nga weema n’ebisolo. Saala yagumira ebizibu bingi awamu n’enkyukakyuka ezajjawo mu bulamu bwabwe. Oluvannyuma Yakuwa yaddamu n’asuubiza Ibulayimu ezzadde, naye ne ku luno teyayogera ku Saala.​—Olubereberye 13:14-17; 15:5-7.

Saala yalwaddaaki n’abuulira Ibulayimu ekintu ekyamuli ku mutima. Yamugamba nti: “Yakuwa anziyizza okuzaala abaana.” Awo n’asaba Ibulayimu azaale abaana mu muzaana we Agali. Olowooza Saala yawulira atya ng’agamba omwami we ebigambo ebyo? Mu kiseera kino, ekyo Saala kye yagamba Ibulayimu okukola kiyinza okutwewuunyisa, naye mu kiseera ekyo abasajja abamu baawasanga abakazi abalala asobole okufuna omusika. * Kyandiba nga Saala yalowooza nti eyo ye ngeri ekisuubizo kya Yakuwa eky’okuwa Ibulayimu ezzadde gye kyandituukiriddemu? Tetumanyidde ddala kye yali alowooza, naye kye tumanyi kiri nti yali mwetegefu okukola ekintu ekitali kyangu n’akamu. Naye, Ibulayimu yakkiriza okukola ekyo Saala kye yamusaba? Bayibuli egamba nti Ibulayimu ‘yawuliriza Saala kye yamugamba.’​—Olubereberye 16:1-3.

Katonda ye yaleetera Saala okugamba Ibulayimu okufuna omukazi omulala? Nedda. Saala yali alowooza nti Katonda ye yali amuziyizza okuzaala, era nga talowooza nti Katonda yali asobola okugonjoola ekizibu ekyo. Yasalawo okukyegonjoolera, kyokka kyamuviiramu ebizibu ebirala. Naye ekyo kye yakola kyalaga nti yali teyeerowoozaako yekka. Saala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi, nnaddala mu kiseera kino ng’abantu abasinga obungi beefaako bokka. Bwe tukulembeza ebyo Katonda by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe, tuba tukoppa Saala.

“OSESE”

Waayita ekiseera kitono, Agali omuzaana wa Saala n’afuna olubuto. Agali bwe yafuna olubuto, yatandika okunyooma mukama we Saala, oboolyawo ng’alowooza nti yali amusinga. Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Saala! Ibulayimu yakkiriza Saala akangavvule Agali, era ekyo ne Katonda yakisemba. Oluvannyuma Agali yazaala mwana mulenzi ne bamutuuma Isimayiri. (Olubereberye 16:4-9, 16) Katonda yaddamu n’ayogera ne Ibulayimu. Mu kiseera ekyo, Saala yalina emyaka 89, ate Ibulayimu yalina emyaka 99. Katonda kye yamugamba ku mulundi ogwo kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo!

Yakuwa yaddamu n’asuubiza mukwano gwe Ibulayimu nti yali ajja kumuwa ezzadde. Okutuusa mu kiseera ekyo, yali akyayitibwa Ibulaamu. Naye Katonda yakyusa erinnya lye n’amutuuma Ibulayimu, eritegeeza, “Kitaawe w’Abangi.” Guno gwe mulundi Yakuwa gwe yasookera ddala okulaga ekifo Saala kye yalina mu kutuukirizibwa kw’ekyo kye yasuubiza Ibulayimu. Yakuwa yamuggyako erinnya Salaayi n’amutuuma Saala. Erinnya Saala litegeeza, “Omumbejja.” Yakuwa yannyonnyola ensonga lwaki yamuwa erinnya eryo. Yagamba Ibulayimu nti: “Nja kumuwa omukisa era nja kukuwa omwana ow’obulenzi okuva mu ye; nja kumuwa omukisa era alivaamu amawanga; bakabaka b’amawanga baliva mu ye.”​—Olubereberye 17:5, 15, 16.

Endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu, ey’ezzadde eryandiviiriddeko amawanga gonna okuweebwa omukisa, yandituukiridde okuyitira mu mwana wa Saala. Omwana oyo Katonda yamuwa erinnya Isaaka, eritegeeza, “Enseko.” Ibulayimu yaseka bwe yawulira nga Yakuwa agamba nti Saala yali ajja kuzaala omwana. (Olubereberye 17:17) Ekintu ekyo kyamwewuunyisa nnyo! (Abaruumi 4:19, 20) Ate ye Saala yawulira atya?

Nga wayiseewo ekiseera kitono, abasajja basatu baakyalira Ibulayimu. Wadde ng’akasana kaali keememula, Ibulayimu ne Saala baayanguwa ne baaniriza abagenyi abo. Ibulayimu yagamba Saala nti: “Yanguwa ofune ebigera bisatu eby’obuwunga obulungi ennyo, obukande ofumbe emigaati.” Mu biseera ebyo, okuteekerateekera abagenyi kwazingirangamu okukola ebintu bingi. Ibulayimu emirimu gyonna teyagirekera Saala. Yayanguwa n’atta ente ento ennume, era n’ateekateeka eby’okulya ebirala n’eby’okunywa. (Olubereberye 18:1-8) “Abasajja” abaali babakyalidde baali bamalayika. Kirabika omutume Pawulo kino kye yali alowoozaako bwe yagamba nti: “Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga abamu abaakola batyo baasembeza bamalayika nga tebamanyi.” (Abebbulaniya 13:2) Naawe osembeza abagenyi nga Ibulayimu ne Saala bwe baakola?

Saala yali ayagala nnyo okusembeza abagenyi

Omu ku bamalayika bwe yaddamu okugamba Ibulayimu nti Saala yali ajja kuzaala omwana, Saala yali mu weema ng’awulira bye baali boogera. Yali tasobola kukikkiriza nti yali asobola okuzaala omwana, era yeesekerera n’agamba nti: “Nnaafuna essanyu lino nga nkaddiye bwe nti, era nga ne mukama wange akaddiye?” Malayika yabuuza Saala nti: “Waliwo ekitasoboka eri Yakuwa?” Saala yatya nnyo, ne yeewolereza ng’agamba nti: “Sisese!” Naye Malayika n’amugamba nti: “Osese.”​—Olubereberye 18:9-15.

Saala bwe yaseka kyali kitegeeza nti teyalina kukkiriza? N’akatono! Bayibuli egamba nti: “Olw’okukkiriza, Saala naye yaweebwa amaanyi n’afuna olubuto wadde nga yali asussizza emyaka egy’okuzaala, kubanga yakitwala nti Oyo eyamusuubiza mwesigwa.” (Abebbulaniya 11:11) Saala yali amanyi Yakuwa; yali akimanyi nti Yakuwa asobola okutuukiriza ekintu kyonna ky’aba asuubizza. Ffenna twetaaga okuba n’okukkiriza ng’okwo. Kitwetaagisa okweyongera okumanya Yakuwa Katonda. Bwe tuneeyongera okumumanya, tujja kukiraba nti Saala yali mutuufu okukkiriza ekyo Katonda kye yali amusuubizza. Yakuwa Katonda mwesigwa era atuukiriza buli ky’asuubiza. Oluusi ayinza n’okukikola mu ngeri eyeewuunyisa.

“MUWULIRIZE”

Yakuwa yawa Saala emikisa olw’okukkiriza kwe

Ku myaka 90, Saala yafuna omwana gwe yali yayagala edda. Yazaalira omwami we Ibulayimu eyali awezezza emyaka 100, omwana ow’obulenzi. Omwana oyo Ibulayimu yamutuuma erinnya Isaaka, nga Katonda bwe yali agambye. Saala yasanyuka nnyo era n’agamba nti: “Katonda andeetedde enseko; buli anaakiwulira anaasekera wamu nange.” (Olubereberye 21:6) Ekirabo ekyo Katonda kye yawa Saala kyamusanyusa nnyo. Kyokka yafuna n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo.

Isaaka bwe yaweza emyaka etaano, Ibulayimu ne Saala baafumba ekijjulo nga bagenda okumuggya ku mabeere. Naye waliwo ebitaagenda bulungi. Bayibuli egamba nti Saala ‘yalaba’ Isimayiri omwana wa Agali eyali ow’emyaka 19, ng’akudaalira Isaaka. Isimayiri yali tazannya buzannyi ng’abaana bwe batera okukola. Omutume Pawulo oluvannyuma yakiraga nti Isimayiri yali ayigganya Isaaka. Saala yakiraba nti ekyo Isimayiri kye yali akola kyali kya bulabe eri omwana we Isaaka. Ng’oggyeeko okuba nti yali mwana we, Isaaka yalina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. Bwe kityo, Saala yafuna obuvumu n’agamba Ibulayimu agobe Agali ne Isimayiri.​—Olubereberye 21:8-10; Abaggalatiya 4:22, 23, 29.

Ibulayimu yawulira atya? Bayibuli egamba nti: Saala “kye yayogera ku mutabani wa Ibulayimu kyanakuwaza nnyo Ibulayimu.” Ibulayimu yali ayagala nnyo Isimayiri, era nga kirabika okwagala okwo kwali kumuzibye amaaso. Kyokka ye Yakuwa ensonga yali agiraba. Yagamba Ibulayimu nti: “Tonakuwala olw’ekyo Saala ky’akugambye ku mulenzi ne ku muzaana wo. Muwulirize kubanga eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.” Yakuwa yagumya Ibulayimu nti yali ajja kulabirira Agali ne mutabani we, era bw’atyo Ibulayimu n’akola nga Saala bwe yamugamba.​—Olubereberye 21:11-14.

Saala yali mukyala mutegeevu nnyo. Teyayogeranga ebyo byokka ebyasanyusanga omwami we. Bwe yalabanga ekintu ekyali kiyinza okuleeta ebizibu mu maka gaabwe, yakimutegeezanga. Engeri gye yayogeramu n’omwami we teraga nti yali tamuwa kitiibwa. Omutume Peetero, nga naye yali mufumbo, yagamba nti Saala yateerawo abakyala ekyokulabirako ekirungi. (1 Abakkolinso 9:5; 1 Peetero 3:5, 6) Mu butuufu, singa Saala yalaba ekizibu ekyo n’asirika busirisi, yandibadde tawadde bba kitiibwa, kubanga ensonga eyo yali egenda kuleetawo ebizibu bingi mu maka gaabwe. Ekyo Saala kye yakola kye kyali ekituufu.

Abakyala balina bingi bye basobola okuyigira ku Saala. Bamuyigirako okwogera n’abaami baabwe mu ngeri eraga nti babawa ekitiibwa. Abakyala abamu oluusi bawulira nti Yakuwa yandiyingidde butereevu mu nsonga z’amaka gaabwe nga bwe yakolera Saala. Wadde ng’ekyo Yakuwa takyakikola, abakyala bayigira ku Saala okuba n’okukkiriza, okuba n’okwagala, era n’okuba abagumiikiriza.

Erinnya Yakuwa lye yawa Saala litegeeza “Omumbejja,” naye Saala yali teyeetwala ng’omumbejja

Wadde ng’erinnya Yakuwa lye yawa Saala litegeeza, “omumbejja,” Saala yali teyeetwala ng’omumbejja. Tekyewuunyisa nti Saala bwe yafa ng’aweza emyaka 127, Ibulayimu ‘yamukungubagira era n’amukaabira.’ * (Olubereberye 23:1, 2) Yalumwa nnyo okufiirwa “omumbejja” we. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yeesunga okuzuukiza omukyala oyo eyali omwesigwa. Saala awamu n’abo bonna abakoppa okukkiriza kwe, bajja kubeerawo emirembe gyonna mu nsi empya.​—Yokaana 5:28, 29.

^ lup. 3 Mu kusooka baali bayitibwa Ibulaamu ne Salaayi, naye mu kitundu kino tugenda kukozesa Ibulayimu ne Saala, amannya Katonda ge yabawa oluvannyuma era abantu abasinga ge bamanyi.

^ lup. 10 Mu biseera ebyo, Yakuwa yaleka abasajja okuwasanga abakazi abasukka mu omu, naye oluvannyuma yakozesa Omwana we Yesu okuzzaawo omutindo gwe yatandikawo mu lusuku Edeni, ogw’omusajja okuwasa omukazi omu yekka.​—Olubereberye 2:24; Matayo 19:3-9.

^ lup. 25 Ku bakyala bonna aboogerwako mu Bayibuli, Saala yekka Bayibuli gw’etubuulira emyaka kwe yafiira.