Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yusufu ow’e Alimasaya Alaga Oludda kw’Ali

Yusufu ow’e Alimasaya Alaga Oludda kw’Ali

YUSUFU OW’E ALIMASAYA ateekwa okuba nga yeewuunya engeri gye yafunamu obuvumu okutuukirira gavana Omuruumi ayitibwa Pontiyo Piraato. Gavana oyo teyali muntu mwangu n’akamu. Kyokka Yesu okusobola okuziikibwa mu ngeri ey’ekitiibwa, kyali kyetaagisa omuntu okutuukirira Piraato okumusaba omulambo gwe. Naye Yusufu bwe yagenda mu maaso ga Piraato, Piraato teyamukaluubiriza oboolyawo nga Yusufu bwe yali asuubira. Oluvannyuma lw’okubuuza omusirikale okukakasa obanga Yesu yali afudde, Piraato yakkiriza Yusufu okutwala omulambo. Bwe kityo Yusufu, nga yenna munakuwavu, yayanguwa n’addayo we baali battidde Yesu.—Mak. 15:42-45.

  • Yusufu ow’e Alimasaya yali ani?

  • Nkolagana ki gye yalina ne Yesu?

  • Era lwaki osaanidde okumanya ebimukwatako?

YALI OMU KU B’OKU LUKIIKO OLUKULU

Enjiri ya Makko egamba nti Yusufu “yali mukiise mu Lukiiko Olukulu.” Olukiiko olwo lwe lwali lukola nga kkooti y’Abayudaaya enkulu era lwali lutuulako abakulembeze b’Abayudaaya. (Mak. 15:1, 43) N’olwekyo Yusufu yali omu ku bakulembeze b’Abayudaaya, era ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki yasobola okugenda mu maaso ga gavana Omuruumi, n’okuba nti yali mugagga.—Mat. 27:57.

Okyoleka mu lujjudde nti Yesu ye Kabaka wo?

Okutwalira awamu, abo abaali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya baali tebaagala Yesu, era beekobaana okumutta. Naye Bayibuli egamba nti ye Yusufu yali “musajja mulungi era nga mutuukirivu.” (Luk. 23:50) Obutafaananako bangi ku banne, Yusufu yali musajja mwesigwa era ng’afuba okukwata amateeka ga Katonda. Ate era “yali alindirira Obwakabaka bwa Katonda.” Kino kituyamba okutegeera ensonga lwaki yafuuka omuyigirizwa wa Yesu. (Mak. 15:43; Mat. 27:57) Kiyinzika okuba nti ebyo Yesu bye yali ayigiriza byamusikiriza olw’okuba yali ayagala amazima n’obwenkanya.

OMUYIGIRIZWA OW’OMU KYAMA

Yokaana 19:38 wagamba nti Yusufu ‘yali muyigirizwa wa Yesu, naye nga wa mu kyama olw’okuba yali atya Abayudaaya.’ Lwaki yali atya Abayudaaya? Yali akimanyi nti Abayudaaya baali tebaagalira ddala Yesu era nga bamaliridde okugoba mu kkuŋŋaaniro omuntu yenna eyali agamba nti akkiririza mu Yesu. (Yok. 7:45-49; 9:22) Omuntu bwe yagobebwanga mu kkuŋŋaaniro, yasekererwanga, era yaboolebwanga. N’olwekyo, Yusufu yasooka n’atya okukiraga mu lwatu nti yali mugoberezi wa Yesu kubanga ekyo kyali kisobola okumuviirako okufiirwa ekifo kye.

Yusufu si ye yekka eyali mu mbeera eyo. Yokaana 12:42, wagamba nti: “Bangi ku bafuzi [bakkiririza mu Yesu] naye olw’Abafalisaayo tebaakiraga, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro.” Omuntu omulala eyali mu mbeera ng’eyo yali Nikodemu, nga naye yali omu ku b’oku Lukiiko Olukulu.—Yok. 3:1-10; 7:50-52.

Wadde nga Yusufu yali muyigirizwa wa Yesu ekyo teyakyoleka mu lujjudde. Ekyo kyali kya kabi naddala bw’olowooza ku bigambo bya Yesu bino: “Buli anjatula mu maaso g’abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Naye buli anneegaanira mu maaso g’abantu nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Mat. 10:32, 33) Yusufu teyeegaana Yesu naye ate era teyayatula nti amukkiririzaamu. Ggwe omwatula?

Kyokka Bayibuli ekyoleka bulungi nti Yusufu teyakkiriziganya na ba ku Lukiiko Olukulu mu lukwe olw’okutta Yesu. (Luk. 23:51) Oboolyawo, ng’abamu bwe bagamba, Yusufu ayinza okuba nga teyaliiwo nga Yesu awozesebwa. K’abe nga yaliwo oba nedda, Yusufu ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo olw’engeri etali ya bwenkanya gye baasaliramu Yesu omusango, naye ekyo yali talina ky’ayinza kukikolera.

AVVUUNUKA OKUTYA

Yesu we yafiira, Yusufu yali aweddemu okutya kwe yalina era ng’asazeewo okukyoleka nti mugoberezi wa Yesu. Ekyo kyeyolekera mu bigambo ebiri mu Makko 15:43 awagamba nti: “Yafuna obuvumu n’agenda ewa Piraato n’amusaba omulambo gwa Yesu.”

Kirabika Yusufu yaliwo nga Yesu afa. Mu butuufu yasooka ne Piraato okumanya nti Yesu yali afudde. Eyo ye nsonga lwaki Yusufu bwe yasaba omulambo gwa Yesu, Piraato yeebuuza obanga ddala Yesu yali afudde. (Mak. 15:44) Kyandiba nti okulaba Yesu ng’afiira mu bulumi obw’amaanyi ku muti ogw’okubonaabona kye kyaleetera Yusufu okwekebera mu bwesimbu n’asalawo okukyoleka mu lwatu nti yali mugoberezi wa Yesu? Oboolyawo ekyo kye kyamuleetera okusalawo bw’atyo. Ka kibe nga ky’ekyo oba nedda, yakwatibwako n’abaako ky’akolawo. Yali takyali muyigirizwa wa Yesu ow’omu kyama.

YUSUFU AZIIKA YESU

Okusinziira ku mateeka g’Abayudaaya, abo abaabanga basaliddwa ogw’okufa baalinanga okuziikibwa ng’enjuba tennagwa. (Ma. 21:22, 23) Naye bo Abaruumi bwe battanga abantu, baabalekanga okuvundira ku miti oba baabateekanga mu ntaana eza bulijjo. Naye ekyo Yusufu si kye yali ayagaliza Yesu. Okumpi ne we battira Yesu, Yusufu yalinawo entaana empya eyali etemeddwa mu lwazi. Okuba nti entaana eyo yali tekozesebwangako, kiraga nti Yusufu yali yaakasengukira mu Yerusaalemi ng’avudde e Alimasaya * era ng’ekifo awaali entaana eyo yali asuubira okukikozesa ng’ekiggya. (Luk. 23:53; Yok. 19:41) Yusufu okuziika Yesu mu ntaana ye gye yali asuubira okuziikibwamu, kyalaga nti yali ayagala nnyo Yesu, era kyatuukiriza obunnabbi obugamba nti Masiya yandiziikiddwa “n’abagagga.”—Is. 53:5, 8, 9.

Waliwo ekintu kyonna ky’otwala ng’ekikulu okusinga enkolagana yo ne Yakuwa?

Enjiri zonna ennya zigamba nti omulambo gwa Yesu bwe gwamala okuggibwa ku muti, Yusufu yaguzinga mu lugoye olwa kitaani n’aguteeka mu ntaana ye. (Mat. 27:59-61; Mak. 15:46, 47; Luk. 23:53, 55; Yok. 19:38-40) Omuntu yekka ayogerwako nti yayamba ku Yusufu ye Nikodemu eyaleeta eby’akaloosa ebyateekebwa ku mulambo. Kiyinzika okuba ng’abasajja abo si be baasitula omulambo gwa Yesu, nnaddala bw’olowooza ku kitiibwa kye baalina. Bayinza okuba nga baakozesa abaweereza baabwe okusitula omulambo n’okuguziika. Ka kibe nti ekyo kituufu oba nedda, ekyo abasajja abo kye baakola tekyali kintu kitono. Omuntu yenna eyakwatanga ku mulambo yafuukanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu era n’ekintu kyonna kye yakwatangako kyafuukanga ekitali kirongoofu. (Kubal. 19:11; Kag. 2:13) Ekyo kitegeeza nti abasajja abo baalina okweyawula ku bantu abalala mu wiiki y’Embaga ey’Okuyitako era baali tebagenda kwenyigira mu mikolo gy’Embaga ey’Okuyitako. (Kubal. 9:6) Ate era Yusufu okukola ku by’okuziika Yesu, kyali kigenda kumuviirako okuba nga banne bamuyisaamu amaaso. Kyokka kati yali mwetegefu okukkiriza ebyandivudde mu ekyo kye yakola eky’okuziika Yesu mu ngeri ey’ekitiibwa n’okweraga mu lujjudde nti yali muyigirizwa wa Kristo.

TADDAMU KWOGERWAKO MU BAYIBULI

Oluvannyuma lw’okuziika Yesu, Yusufu ow’e Alimasaya taddamu kwogerwako mu Bayibuli. N’olwekyo ekyebuuzibwa kiri nti: Kiki ekyaddirira oluvannyuma lw’ekyo? Ekituufu kiri nti tetumanyi. Naye bwe tulowooza ku ebyo bye tumusomako mu Bayibuli, kisoboka okuba nti yamala n’akyatula mu lujjudde nti yali Mukristaayo. Ekyo kiri kityo kubanga mu kiseera ekyali ekizibu ennyo kyeyoleka kaati nti okukkiriza kwe n’obuvumu bwe yalina byali byeyongera bweyongezi.

Oluvannyuma lw’okulaba ebikwata ku Yusufu, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: Waliwo ekintu kyonna, gamba ng’ekifo kye nnina, omulimu, ebintu, ab’eŋŋanda, oba eddembe lye nnina, kye ntwala ng’ekikulu okusinga enkolagana yange ne Yakuwa?

^ lup. 18 Alimasaya eyinza okuba nga ye Laama, kati ekiyitibwa Rentis (Rantis). Akabuga Laama nnabbi Samwiri gye yali abeera, era kaali mayiro 22 ebukiikakkono wa Yerusaalemi.—1 Sam. 1:19, 20.