Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe”?

Yesu yayigiriza abantu okuba mu mirembe ne bannaabwe. Kyokka lumu yagamba abatume be nti: “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.” (Mat. 10:34, 35) Kiki Yesu kye yali ategeeza?

Yesu yali tayagala kwawukanya ba ŋŋanda. Naye yali akimanyi nti ebyo bye yayigiriza byandibaleetedde okuba n’enjawukana. N’olwekyo abo abandibadde baagala okubatizibwa bafuuke abagoberezi ba Kristo, bandibadde basaanidde okumanya ekyo ekyandivudde mu ekyo kye basalawo. Bannaabwe mu bufumbo oba ab’eŋŋanda zaabwe bwe bandibayigganyizza, tekyandibabeeredde kyangu okusigala nga banyweredde ku njigiriza za Kristo.

Bayibuli ekubiriza Abakristaayo “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Bar. 12:18) Naye mu maka agamu, enjigiriza za Yesu zisobola okuba ‘ng’ekitala.’ Ekyo kibaawo singa omu ku b’omu maka asalawo okukolera ku njigiriza za Kristo, ate abalala ne bagaana. Mu mbeera ng’eyo, ab’eŋŋanda z’omuntu ayiga amazima b’abeera nabo, bafuuka ‘balabe.’​—Mat. 10:36.

Abayigirizwa ba Kristo ababeera n’ab’eŋŋanda zaabwe abataweereza Yakuwa oluusi baba balina okusalawo obanga banaasanyusa Yakuwa ne Yesu, oba ba ŋŋanda zaabwe. Ng’ekyokulabirako, ab’eŋŋanda zaabwe abataweereza Yakuwa bayinza okugezaako okubawaliriza okukuza olunaku olumu olukuzibwa mu ddiini. Bwe boolekagana n’embeera ng’eyo, ani gwe banaasalawo okusanyusa? Yesu yagamba nti: “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga nze, tansaanira.” (Mat. 10:37) Kya lwatu Yesu yali tategeeza nti omuntu okusobola okuba omuyigirizwa we alina okulekera awo okwagala ennyo bazadde be. Mu kifo ky’ekyo, yali ayigiriza abayigirizwa be engeri gye basaanidde okusalawo ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Singa ab’eŋŋanda zaffe abatali baweereza ba Yakuwa bagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa, tusigala tubaagala, naye nga tukimanyi nti Yakuwa gwe tulina okusinga okwagala.

Awatali kubuusabuusa, kiruma nnyo omuntu okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda ze. Wadde kiri kityo, abayigirizwa ba Yesu basaanidde okujjukira ebigambo bino: “Buli atasitula muti gwe ogw’okubonaabona n’angoberera, tansaanira.” (Mat. 10:38) Mu ngeri endala, Abakristaayo okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe bakitwala ng’ekimu ku bintu abayigirizwa ba Kristo bye balina okuyitamu. Kyokka era baba n’essuubi nti enneeyisa yaabwe ennungi eyinza okuviirako ab’eŋŋanda zaabwe abataweereza Yakuwa okulekera awo okubayigganya, n’okutandika okuyiga amazima agali mu Bayibuli.​—1 Peet. 3:1, 2.