Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kye Tuyigira ku Kisa kya Katonda

Kye Tuyigira ku Kisa kya Katonda

Eri Abavubuka Baffe

Kye Tuyigira ku Kisa kya Katonda

YONA—EKITUNDU 2

Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.

1 WEKKAANYE EBYALIWO.​—SOMA YONA 3:1–4:11.

Olowooza Yona yawulira atya ng’ayingira mu kibuga Nineeve?

․․․․․

Olowooza eddoboozi Yona lye yakozesa ng’alangirira obubaka obw’omusango gwa Yakuwa, liraga nneewulira ki gyalina?

․․․․․

Yona yali yeewulira atya ng’atudde wabweru w’ekibuga? (laba Yona 4:5-8.)

․․․․․

2 NOONYEREZA.

Yona ayinza kuba nga yalina nsonga ki eyali emwagaza Yakuwa azikirize ekibuga Nineeve nga bwe Yali alagudde?

․․․․․

Ng’okozesa ebitabo by’olina ebiyinza okukuyamba okunoonyereza, zuula ebikwata ku bino wammanga (1) ekiryo engeri gye kyali kifaananamu n’ebikikwatako, ne (2) amakulu agali mu kuba nti kabaka wa Nineeve yeebikka ebibukutu era n’atuula mu vvu.

․․․․․

Ng’oggyeko okuba nti mu kusooka Yona yali tayagala kugenda mu Nineeve kulagula, lwaki ayitibwa nnabbi omwesigwa era omuvumu? (Matayo 21:28-31)

․․․․․

3 SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA KU . . .

Busobozi abantu bwe balina okukyusa amakubo gaabwe amabi.

․․․․․

Kisa kya Yakuwa.

․․․․․

Bwetaavu bwaffe obw’okubeera ab’ekisa.

․․․․․

4 MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?

․․․․․

Okunoonyereza ebisingawo, laba Watchtower, eya Apuli 1, 2009, olupapula 14-18.

BW’OBA TOLINA BAIBULI, GISOMERE KU MUKUTU

www.watchtower.org