Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abakristaayo Babatizibwa?

Lwaki Abakristaayo Babatizibwa?

Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda

Lwaki Abakristaayo Babatizibwa?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.

1. Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kulina Makulu ki?

Omukristaayo bw’abatizibwa aba asaba Katonda amuyambe okuba n’enkolagana ennungi naye. N’olwekyo, omuntu tasaanidde kubatizibwa nga muwere, wabula ng’akuze ekimala okusobola okuyiga ebikwata ku Katonda n’okufuuka omuyigirizwa wa Yesu. (Ebikolwa 8:12; 1 Peetero 3:21) Tufuuka abayigirizwa ba Yesu bwe tuyiga era ne tukola ebyo bye yalagira.​—Soma Matayo 28:19, 20.

Mu kiseera ky’abatume ba Yesu, abantu bangi baasalawo mu bwangu okuyiga ebikwata ku Katonda ne Yesu. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu bwe yayiga nti okufa kwa Yesu kwaggulirawo abantu ekkubo ery’obulokozi yafuukirawo omuyigirizwa. Leero, abantu bangi abeesimbu basazeewo okufuuka abagoberezi ba Yesu.​—Soma Ebikolwa 8:26-31, 35-38.

2. Lwaki Yesu yabatizibwa?

Yesu yali wa myaka nga 30 Yokaana Omubatiza we yamunnyikira mu mazzi ag’omugga Yoludaani. Yesu bwe yabatizibwa kyalaga nti yali asazeewo okukola Katonda by’ayagala. (Abebbulaniya 10:7) Kino kyandizingiddemu okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka olw’ebibi by’abantu bonna. Ne bwe yali nga tannajja ku nsi, Yesu yayagalanga nnyo Yakuwa, Kitaawe era yamugonderanga.​—Soma Makko 1:9-11; Yokaana 8:29; 17:5.

3. Lwaki Omukristaayo asaanidde okubatizibwa?

Obutafaananako Yesu, tuzaalibwa nga tuli boonoonyi. Naye, okufa kwa Yesu kutusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. (Abaruumi 5:10, 12; 12:1, 2) Mu butuufu, kisoboka okufuuka ab’omu maka ge. (2 Abakkolinso 6:18) Enkizo eyo tugifuna tutya? Omuntu kennyini ng’ali yekka aba alina okusaba nga yeewaayo eri Yakuwa nga yeeyama okukola by’ayagala obulamu bwe bwonna. Bw’amala okwewaayo, akiraga mu lujjudde ng’abatizibwa.​—Soma Matayo 16:24; 1 Peetero 4:2.

4. Biki bye weetaaga okukola okusobola okubatizibwa?

Omuntu yenna ayagala okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda Abajulirwa ba Yakuwa bamuyigiriza Bayibuli. Okuyiga Bayibuli n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo bijja kukuyamba okwongera okwagala Katonda n’okumukkiririzaamu. Ate era bijja kukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’empisa ennungi. Okuba n’okwagala, okukkiriza n’engeri endala ezisanyusa Katonda kijja kukuyamba okutuukiriza obweyamo bwo obw’okuweereza Yakuwa emirembe gyonna.​—Soma Yokaana 17:3; Abebbulaniya 10:24, 25.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 18 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.