Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Ntalo?

Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Ntalo?

Alberto eyali mu magye okumala emyaka nga kkumi agamba nti: “Omusaseredooti waffe yatugambanga nti, ‘Katonda ali nammwe.’ Naye nneebuuzanga, ‘Ekyo kisoboka kitya nga ŋŋenda kutta, ate nga Bayibuli egamba nti, “Tottanga.”’”

Ray yali mu ggye ery’oku mazzi mu ssematalo ow’okubiri. Lumu yabuuza omwawule nti: “Ojja ku mmeeri n’otusabira tuwangule olutalo, olowooza abalabe nabo tebasaba bawangule?” Omwawule yamuddamu nti Mukama akola ebintu mu ngeri eyeewuunyisa.

Ddala bannaddiini basaanidde okuwagira entalo?

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA

Yesu yagamba nti erimu ku mateeka ga Katonda agasinga obukulu kwe ‘kwagala muntu munnaffe nga bwe tweyagala.’ (Makko 12:31) Yesu yali ategeeza nti tulina kwagala bantu ba mu nsi yaffe bokka oba ab’eggwanga lyaffe bokka? Nedda. Yagamba abayigirizwa be nti: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:34, 35) Bandibadde baagalana nnyo, era okwagala okwo kwandiyambye abalala okutegeera nti bayigirizwa ba Yesu. Mu kifo ky’okutta bannaabwe, bandibadde beetegefu okubafiirira.

Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakolera ku bigambo bya Yesu ebyo. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia of Religion kigamba nti: “Abakulembeze b’amadiini ab’edda (church fathers), nga kw’otadde Tertullian ne Origen, baagamba nti Abakristaayo baali tebayinza kutta bantu, era kye baava bagaana okuyingira mu ggye ly’Abaruumi.”

ABAJULIRWA BA YAKUWA BAKOLA BATYA MU NSONGA EYO?

Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa kumpi mu buli nsi. Naye amawanga ge balimu bwe gaba galwanagana, bo tebabaako ludda lwe bawagira era ng’ako kabonero akalaga nti balina okwagala.

Abakulembeze b’eddiini bayigirizza abantu okwoleka okwagala okwa nnamaddala?

Ng’ekyokulabirako, mu kitta bantu ekyali e Rwanda mu 1994 wakati w’Abahutu n’Abatuusi, Abajulirwa ba Yakuwa tebalina ludda lwe baawagira. Abajulirwa ba Yakuwa ab’eggwanga erimu, baakwekanga bannaabwe ab’eggwanga eddala, wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu bwabwe mu kabi. Lumu Abajulirwa ba Yakuwa babiri Abahutu baakweka bannaabwe Abatuusi. Abalwanyi ba Interahamwe Abahutu bwe baabasanga baabagamba nti, “Mulina okufa kubanga mukweka Abatuusi.” Era Abajulirwa ba Yakuwa abo Abahutu battibwa.​—Yokaana 15:13.

Olowooza otya: Ekyo tekiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa booleka okwagala Yesu kwe yayogerako?