Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki abamenyi b’amateeka abaakomererwanga baamenyebwanga amagulu?

Ebitabo by’Enjiri biraga nti Yesu n’abamenyi b’amateeka bwe baali bakomereddwa ku miti, ‘Abayudaaya baasaba Piraato abakkirize bamenye amagulu gaabwe n’emirambo gyabwe giwanulweyo.’Yokaana 19:31.

Amateeka Katonda ge yawa Abayudaaya gaali gagamba nti omumenyi w’amateeka bwe yakomererwanga ku muti, omulambo gwe gwali ‘tegulina kusula ku muti.’ (Ekyamateeka 21:22, 23) Abaruumi bwe baakomereranga omumenyi w’amateeka, Abayudaaya bayinza okuba nga baagobereranga enkola y’emu ey’okumenya amagulu ge. Abasajja abaakomererwa ne Yesu baamenyebwa amagulu basobole okufa amangu, era baziikibwe ng’enjuba tennagwa kubanga olunaku lwa Ssabbiiti lwatandikanga enjuba emaze okugwa.

Bateekanga omuntu ku muti ne bagatta emikono gye ne bagikomereramu omusumaali era ne bakola kye kimu ne ku bigere bye. Oluvannyuma baasimbanga omuti kwe bakomeredde omuntu, n’abeera okwo ng’awulira obulumi obw’amaanyi. Omuntu oyo buli lwe yassanga, obulumi bweyongeranga olw’omusumaali ogwabanga gukomereddwa mu bigere bye. Kyokka amagulu bwe gaabanga gamenyeddwa, yabanga tasobola kussa bulungi. Ekyo kyamuviirangako okufa amangu olw’ekiziyiro, oba olw’obulumi.

Envuumuulo zaakozesebwanga zitya mu ntalo ez’edda?

Dawudi yakozesa nvuumuulo okutta Goliyaasi. Dawudi ayinza okuba nga yayiga okukozesa envuumuulo mu biseera we yalundiranga endiga ng’akyali mulenzi muto.1 Samwiri 17:40-50.

Abalwanyi ba Bwasuli nga bawuuba envuumuulo nga balumbye ekibuga ky’Abayudaaya

Abamisiri n’Abaasuli baakolanga ebifaananyi ebiriko abalwanyi abakutte envuumuulo. Okusobola okukola envuumuulo baddiranga akagoye oba akaliba ne bakasibako obuguwa bubiri. Omulwanyi yateekanga ejjinja eryetooloovu mu nvuumuulo n’agiwuuba, oluvannyuma n’ata akamu ku buguwa obwo ejjinja ne liva mu nvuumuulo nga liddukira ku sipiidi ya maanyi nnyo ne likuba omulabe.

Abayiikuula eby’omu ttaka baavumbula mu Buwalabu amayinja mangi abalwanyi ge baakozesanga mu ntalo. Abalwanyi abakugu abaakozesanga envuumuulo kigambibwa nti ejjinja lye baakasukanga lyaddukiranga ku sipiidi ya maanyi nnyo. Abawandiisi b’ebitabo abamu bagamba nti ejjinja eryakasukibwanga lyagwanga wala ng’akasaale gye kagwa.Ekyabalamuzi 20:16.