Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENGERI Y’OKWAŊŊANGA EBIKWERALIIKIRIZA

Okweraliikirira Ebizibu by’Amaka

Okweraliikirira Ebizibu by’Amaka

Janet agamba nti: “Taata wange olwafa, omwami wange yaŋŋamba nti yali afunyeeyo omukazi omulala. Oluvannyuma lw’akaseera katono, yapakira ebintu bye n’andekawo n’abaana baffe babiri awatali kututegeeza wadde okutusiibula.” Janet yafuna omulimu, naye ssente ze baali bamusasula zaali ntono nnyo nga tasobola kumalayo bbanja lya nnyumba yaabwe. Ate ng’oggyeeko eby’enfuna, waliwo ebintu ebirala ebyali bimweraliikiriza. Janet agamba nti: “Ow’okuba nnalina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna ekyo kyandeetera okweraliikirira ennyo. Nnawuliranga bubi olw’okuba nnali sisobola kuwa baana bange buli kimu kye baali beetaaga ng’abazadde abalala. Ne leero mpulira bubi bwe ndowooza ku ngeri abantu abalala gye batutwalamu nze n’abaana bange. Oboolyawo balowooza nti saakola kyonna ekisoboka okukuuma obufumbo bwange.”

Janet

Okusaba kuyamba Janet okufuga ebirowoozo bye era n’okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Janet agamba nti: “Olw’okuba obudde bw’ekiro buba busirifu, bwe businga okumbeerera obuzibu kubanga mba ndowooza nnyo ku ebyo ebinneeraliikiriza. Okufuna otulo, mmala kusaba n’okusoma Bayibuli. Abafiripi 4:6, 7 kye kyawandiikibwa kye nsinga okwagala. Kigamba nti: ‘Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.’ Mmaze ebiro bingi nga nsaba Yakuwa era annyambye okufuna emirembe mu mutima.”

Ebigambo Yesu bye yayogera ng’ayigiriza ku Lusozi bikwata ku kweraliikirira okwa buli ngeri. Yagamba nti: “Kitammwe Katonda amanyi ebintu bye mwetaaga nga temunnaba na kubimusaba.” (Matayo 6:8) Ffenna twetaaga okusaba Katonda kubanga okusaba ye ngeri enkulu etuyamba ‘okusemberera Katonda.’ Bwe tukola bwe tutyo, Katonda naye ‘atusemberera.’Yakobo 4:8.

Ng’oggyeeko okufuna obuweerero nga waliwo ebitweraliikiriza, bwe tusaba Yakuwa, oyo “awulira okusaba,” abaako ky’akolawo okutuyamba. (Zabbuli 65:2) Eyo ye nsonga lwaki yakubiriza abagoberezi be “okusabanga bulijjo awatali kulekulira.” (Lukka 18:1) Tusaanide okuba abakakafu nti bwe twoleka okukkiriza nga bulijjo tusaba Katonda atuyambe era atuwe obulagirizi, ajja kutuyamba. Tetusaanidde kubuusabuusa nti Yakuwa ayagala nnyo okutuyamba era nti alina obusobozi obwo. Bwe ‘tusaba bulijjo’ kiraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi.—1 Abassessaloniika 5:17.

KYE KITEGEEZA OKUBA N’OKUKKIRIZA

Naye okukkiriza kye ki? Okukkiriza kuzingiramu ‘okumanya’ Katonda. (Yokaana 17:3) Ekyo tukikola nga tusoma Bayibuli ne tufuna endowooza ya Katonda era ne kituyamba okukimanya nti Katonda alaba buli omu ku ffe era nti ayagala okutuyamba. Kyokka, okukkiriza okwa nnamaddala tekukoma ku kuyiga ku bikwata ku Katonda. Kizingiramu n’okukola omukwano ogw’oku lusegere naye. Nga bwe kitwala ekiseera okukola omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu omulala, okukola omukwano ne Yakuwa nakyo kitwala ekiseera ekiwerako. Bwe tweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ‘okukola ebintu ebimusanyusa,’ n’okufuna obuyambi bwe, okukkiriza kwaffe “kugenda kweyongera.” (2 Abakkolinso 10:15; Yokaana 8:29) Okwo kwe kukkiriza okuyamba Janet okwaŋŋanga ebimweraliikiriza.

Janet agamba nti: “Engeri Yakuwa gy’annyambamu buli kiseera y’ennyambye okunyweza okukkiriza kwange. Emirundi mingi twayolekagana n’obutali bwenkanya obutaali bwangu kwaŋŋanga. Olw’okuba twasaba nnyo Yakuwa, yatuyamba okubwaŋŋanga mu ngeri gye nnali sisuubira. Bwe nneebaza Yakuwa, kinzijukiza ebintu ebingi by’ankoledde. Bulijjo atuyamba mu kiseera ekituufu. Ate era annyambye okufuna emikwano egya nnamaddala, baganda bange ne bannyinaze Abakristaayo. Bulijjo bannyamba era bateereddewo abaana bange ekyokulabirako ekirungi.” *

“Mmanyi ensonga lwaki Yakuwa ‘akyawa okugoba abakazi’ nga bwe kiragibwa mu Malaki 2:16. Omufumbo bw’ayabulira munne, obwo buba butali bwesigwa, era oyo gwe baabulidde asigala mu nnaku ya maanyi. Kati wayiseewo emyaka egiwera okuva omwami wange lwe yanjabulira, wadde kiri kityo ebiseera ebimu mpulira ekiwuubaalo kya maanyi. Bwe mbeera mu mbeera ng’eyo mbudaabudibwa nnyo bwe nfuba okukolera omuntu omulala ekintu ekirungi.” Janet afuba obuteeyawula ku balala nga Bayibuli bw’egamba, era ekyo kimuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde. *Engero 18:1.

Katonda ye ‘kitaawe w’abo abatalina ba kitaabwe, era akuuma bannamwandu.’Zabbuli 68:5

Janet agamba nti: “Mbudaabudibwa buli lwe nkijjukira nti Katonda ye ‘kitaawe w’abo abatalina ba kitaabwe, era akuuma bannamwandu.’ Tasobola kutwabulira ng’omwami wange bwe yakola.” (Zabbuli 68:5) Janet akimanyi nti Katonda tatugezesa “na bintu bibi.” Wabula, “agabira bonna” amagezi era atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” tusobole okwaŋŋanga ebitweraliikiriza.Yakobo 1:5, 13; 2 Abakkolinso 4:7.

Naye ate singa tuba tweraliikirira olw’okuba obulamu bwaffe buli mu kabi?

^ lup. 10 Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okwaŋŋanga ebikweraliikiriza, laba Awake! eya Jjulaayi 2015 erina omutwe ogugamba nti, “Are You in Control of Your Life?” era osobola okugifuna ne ku mukutu www.ps8318.com.