Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Katonda Alina Ndowooza Ki ku Ntalo?

Katonda Alina Ndowooza Ki ku Ntalo?

Ekibuuzo ekyo wandikizzeemu otya? Abantu bangi balowooza nti Katonda awagira entalo. Bagamba nti ne Bayibuli eraga nti Katonda yakkiriza abamu ku baweereza be mu biseera eby’edda okulwana entalo. Kyokka, abalala bakimanyi nti Yesu, Omwana wa Katonda, yayigiriza abagoberezi be okwagala abalabe baabwe. (Matayo 5:43, 44) N’olw’ensonga eyo, bagamba nti ekiseera kyatuuka endowooza ya Katonda ku ntalo n’ekyuka, era nti leero takyaziwagira.

Ggwe olowooza otya? Ddala Katonda awagira entalo? Bwe kiba bwe kityo, ludda ki lw’awagira mu ntalo eziriwo leero? Bw’onoomanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, kijja kukuyamba okulaba obanga endowooza gy’olina ku ntalo ntuufu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba olowooza nti Katonda awagira entalo era nti oludda lw’owagira mu lutalo olumu naye lw’awagira, kikuleetera okuwulira obulungi era oba mukakafu nti oludda lwo lujja kuwangula. Ku luuyi olulala, wandiyisiddwa otya singa okimanya nti oludda lw’owagira Katonda si lw’awagira?

Okumanya endowooza Katonda gy’alina ku ntalo, kiyinza okukwata ku ngeri gy’omutwalamu. Bw’oba ng’oli omu ku bantu abakoseddwa entalo, oteekwa okuba nga wandyagadde okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo kino: Katonda muwakuzi wa ntalo, ng’abamu bwe balowooza, era tafaayo ku abo ababonaabona olw’entalo?

Kiyinza okukwewuunyisa okukimanya nti ekyo Bayibuli ky’egamba ku nsonga eno kya njawulo nnyo ku ekyo abantu bangi kye balowooza. Ate era, okuviira ddala mu biseera eby’edda n’okutuusa leero, endowooza Katonda gy’alina ku ntalo tekyukanga. Kati ka tulabe engeri Katonda gye yatwalangamu entalo mu biseera eby’edda, ne mu kyasa ekyasooka nga Yesu ali ku nsi. Ekyo kijja kutuyamba okumanya engeri Katonda gy’atwalamu entalo leero, n’okumanya obanga entalo zinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.