Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Onooganyulwa Otya mu Kusoma Bayibuli?

Onooganyulwa Otya mu Kusoma Bayibuli?

Bayibuli ya njawulo nnyo ku bitabo ebirala. Erimu amagezi agava eri Omutonzi waffe. (2 Timoseewo 3:16) Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okutuyamba mu bulamu bwaffe. Bayibuli egamba nti: ‘Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ (Abebbulaniya 4:12) Bayibuli esobola okutuyamba mu ngeri bbiri enkulu: esobola okutuwa obulagirizi bwe twetaaga, era esobola okutuyamba okumanya ebikwata ku Katonda ne by’agenda okutukolera.1 Timoseewo 4:8; Yakobo 4:8.

Obulagirizi bwe twetaaga. Bayibuli esobola okutuwa obulagirizi ku bintu nga bino:

Waliwo omwami ne mukyala we ab’omu Asiya abaasiima ennyo obulagirizi bwe baafuna mu Bayibuli. Okufaananako abantu bangi ababa baakafumbiriganwa, nabo mu kusooka empuliziganya wakati waabwe teyali nnungi. Naye bwe baatandika okukolera ku ebyo bye baali basoma mu Bayibuli, embeera yagenda etereera mpolampola. Vincent, ng’ono ye mwami, agamba nti: “Bye twasoma mu Bayibuli byatuyamba okugonjoola ebizibu bye twalina mu bufumbo bwaffe. Okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli kituyambye okuba abasanyufu mu maka gaffe.” Mukyala we ayitibwa Annalou naye agamba nti: “Okusoma ku bantu abatali bamu aboogerwako mu Bayibuli kituyambye nnyo. Kati tuli bulungi mu bufumbo bwaffe, era tuli basanyufu.”

Okuyiga ebikwata ku Katonda. Ng’oggyeeko okuba nti Bayibuli ebayambye mu bufumbo bwabwe, Vincent era agamba nti: “Okusoma Bayibuli kinnyambye okweyongera okusemberera Katonda.” Ebigambo bya Vincent ebyo biraga nti Bayibuli esobola okukuyamba okumanya Katonda, n’okufuuka mukwano gwe. Ate era bw’onoosoma Bayibuli, ojja kumanya ebikwata ku ‘bulamu obwa nnamaddala,’ nga bwe bulamu obutaggwaawo, Katonda bwe yasuubiza. (1 Timoseewo 6:19) Teri kitabo kirala kisobola kutuyamba kumanya bintu ng’ebyo.

Bw’onootandika okusoma Bayibuli, naawe ojja kulaba engeri gy’eneekuyambamu mu bulamu bwo era ojja kumanya ebikwata ku Katonda. Kyokka bw’onooba osoma Bayibuli wayinza okubaawo ebintu by’otategeera. Bw’obaako ebintu by’otategedde, ba ng’omusajja Omwesiyopiya eyaliwo emyaka nga 2,000 emabega. Omusajja oyo bwe yali asoma Ebyawandiikibwa ne wabaawo amubuuza obanga yali ategeera by’asoma, yaddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?” * Omusajja oyo yakkiriza Firipo omuyigirizwa wa Yesu eyali amanyi obulungi Ebyawandiikibwa okumuyamba. (Ebikolwa 8:30, 31, 34) Naawe bw’oba nga wandyagadde okutegeera obulungi Bayibuli, tukukubiriza okujjuzzaamu akakonge akali ku www.ps8318.com/lg oba okutuwandiikira ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri mu katabo kano. Oyinza n’okutuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba okugenda ku Kingdom Hall gye basabira. Lwaki totandikirawo leero okusoma Bayibuli? Bw’onookola bw’otyo, ojja kuganyulwa nnyo.

Okukasa obanga Bayibuli Kigambo kya Katonda, laba vidiyo erina omutwe ogugamba nti, Tukakasa tutya nti Bayibuli Ntuufu? Osobola okugifuna ku mukutu jw.org/lg, ng’oli ku mukutu ogwo nyiga ku kigambo “Noonya” owandiikewo omutwe gwa vidiyo eyo

^ lup. 8 Okumanya amagezi amalala Bayibuli g’ewa ku nsonga ezitali zimu, genda ku mukutu jw.org/lg. Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU.

^ lup. 11 Laba n’ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Ekyawandiikibwa Okitegeera mu Ngeri Entuufu?