Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKKUBO ERIREETA ESSANYU

Okwagala

Okwagala

ABANTU BAAGALA OKWAGALIBWA. Tewali bufumbo, maka, oba mukwano gusobola kunywera awatali kwagala. Kyeyoleka kaati nti okwagala kye kimu ku bintu ebikulu ennyo ebireeta essanyu. Naye “okwagala” kye ki?

Okwagala okwogerwako wano si kwe kwo okubaawo wakati w’omusajja n’omakazi, wadde nga nakwo kulina ekifo kyakwo. Wabula kwe kwagala okw’ekika ekya waggulu okuleetera omuntu okufaayo ku balala, ng’akulembeza ebyabwe mu kifo ky’ebibye. Okwagala kuno kwesigamiziddwa ku misingi gya Katonda, kyokka era kuzingiramu omukwano.

Bayibuli ennyonnyola bulungi okwagala kye kutegeeza. Egamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima. Kugumira ebintu byonna, . . . kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.”​—1 Abakkolinso 13:4-8.

Okwagala ng’okwo “tekulemererwa” mu ngeri nti kujja kubaawo emirembe gyonna. Mu butuufu, ekiseera bwe kigenda kiyitawo okwagala okwo kweyongera okunywera. Ate era olw’okuba kugumiikiriza, kwa kisa, era nga kusonyiwa, “kunywereza ddala obumu.” (Abakkolosaayi 3:14) N’olwekyo abantu abalina okwagala okwo baba bawulira nga batebenkedde era baba basanyufu wadde nga tebatuukiridde. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bufumbo.

BUNYWEZEBWA OKWAGALA ‘OKUNYWEREZA DDALA OBUMU’

Yesu yayogera ku misingi egitali gimu egikwata ku bufumbo. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era ababiri abo banaabanga omubiri gumu’ . . . N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Matayo 19:5, 6) Mu bigambo ebyo tulabamu emisingi ebiri.

“ABABIRI ABO BANAABANGA OMUBIRI GUMU.” Obufumbo ye nkolagana esingayo okuba ey’oku lusegere abantu gye basobola okuba nayo, era okwagala kuyamba abafumbo okwewala obutaba beesigwa eri bannaabwe, kwe kugamba, okwewala obwenzi. (1 Abakkolinso 6:16; Abebbulaniya 13:4) Obwenzi buleetera abafumbo okulekera awo okwesigaŋŋana era bwabuluzaamu obufumbo. Ate era omwami n’omukyala bwe baba n’abaana, ekyo kikosa nnyo abaana, ne kibaleetera n’okuwulira nti tebaagalibwa, tebalina bukuumi, era ne kibaleetera n’okwekyawa.

“KATONDA KY’AGASSE AWAMU.” Obufumbo butukuvu. Ekyo omwami n’omukyala bwe bakikuumira mu birowoozo, kibakubiriza okuba abamalirivu okunyweza obufumbo bwabwe. Bwe bafuna ebizibu, tebagezaako kunoonya ngeri ya kudduka mu bufumbo bwabwe. Okwagala kwe baba nakwo kuba kwa maanyi era kubayamba okugumira embeera enzibu. Okwagala ng’okwo “kugumira ebintu byonna,” kwe kugamba, kubayamba okufuba okugonjoola ebizibu basobole okusigala nga bali bumu era nga bali mu mirembe.

Omwami n’omukyala bwe baba n’okwagala okunywevu, kiganyula nnyo abaana baabwe. Omuvubuka ayitibwa Jessica yagamba nti: “Taata ne maama baagalana nnyo era bawaŋŋana ekitiibwa. Bwe ndaba engeri maama gy’assa mu taata ekitiibwa nnaddala nga balina kye batugamba ffe abaana, mpulira nga njagala okuba nga ye.”

Okwagala ye ngeri ya Katonda esinga obukulu. Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakuwa ayitibwa “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11) Naffe tujja kuba basanyufu singa tufuba okukoppa engeri z’Omutonzi waffe, nnaddala okwagala. Abeefeso 5:1, 2 wagamba nti: “Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala.”