Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu

Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu

Obufumbo n’abaana birabo bya muwendo okuva eri Omutonzi waffe. Ayagala tubeere n’amaka agalimu essanyu. N’olwekyo okuyitira mu kitabo ekitukuvu ekyawandiikibwa edda, atuwadde obulagirizi obusobozesa ab’omu maka okuba n’obulamu obulungi era n’okuba abasanyufu. Lowooza ku magezi gano g’atuwadde.

Abaami, Mwagale Bakyala Bammwe

‘Abaami bagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Omusajja ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini, kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.’​—ABEEFESO 5:28, 29.

Omwami gwe mutwe gw’amaka. (Abeefeso 5:23) Naye omwami omulungi taba mukambwe, era taba nnaakyemalira. Atwala mukyala we nga wa muwendo, amulabirira mu by’omubiri, era afaayo ku nneewulira ye. Ate era afuba nnyo okumusanyusa, nga yeewala buli kiseera okukalambira ku ekyo ye ky’aba ayagala. (Abafiripi 2:4) Aba n’empuliziganya ennungi naye, era amuwuliriza bw’abaako ky’amugamba. ‘Tamusunguwalira,’ era takola bintu bimulumya.​—Abakkolosaayi 3:19.

Abakyala, Musseemu Abaami Bammwe Ekitiibwa

“Omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”​—ABEEFESO 5:33.

Omukyala bw’assaamu omwami we ekitiibwa era n’amuwagira mu ebyo by’aba asazeewo, ayambako mu kuleetawo emirembe mu maka. Omwami we bw’akola ensobi tamuyisaamu maaso, wabula asigala nga mukkakkamu era ng’amussaamu ekitiibwa. (1 Peetero 3:4) Bw’aba n’ekizibu ky’ayagala okutegeeza omwami we, alonda ekiseera ekituufu eky’okukimugambiramu era ayogera naye mu ngeri eraga nti amussaamu ekitiibwa.​—Omubuulizi 3:7.

Beera Mwesigwa eri Munno mu Bufumbo

‘Omusajja anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’​—OLUBEREBERYE 2:24.

Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa, bafuna enkolagana ey’oku lusegere. N’olwekyo abafumbo balina okufuba ennyo okunyweza obufumbo bwabwe nga bafunayo ekiseera ne banyumyako, era buli omu n’akolerayo munne ebintu ebirungi. Ate era buli omu alina okuba omwesigwa eri munne nga yeewala okwegatta n’omuntu omulala atali munne mu bufumbo. Obwenzi kikolwa kya ttima. Kireetera omuntu okulekera awo okwesiga munne, era kisobola okuviirako obufumbo okusattulukuka.​—Abebbulaniya 13:4.

Abazadde, Mutendeke Abaana Bammwe

“Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”​—ENGERO 22:6.

Katonda yawa abazadde obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana baabwe. Ekyo kizingiramu okuyigiriza abaana engeri y’okweyisaamu era n’okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (Ekyamateeka 6:6, 7) Omwana bwe yeeyisa obubi, omuzadde ow’amagezi takambuwala kisusse. Mu kifo ky’ekyo, aba ‘mwangu okuwuliriza, alwawo okwogera, era alwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Omuzadde bw’akiraba nti omwana yeetaaga okukangavvula, tasaanidde kumukangavvula na busungu, wabula na kwagala.

Abaana, Mugondere Bazadde Bammwe

“Abaana, mugonderenga bazadde bammwe . . . ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”​—ABEEFESO 6:1, 2.

Abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe n’okubassaamu ennyo ekitiibwa. Abaana bwe bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe, kireeta essanyu mu maka era kiyambako mu kuleetawo emirembe n’obumu. Abaana ababa bakuze bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe, nga bafuba okulaba nti bazadde baabwe balabirirwa bulungi. Ekyo kiyinza okuzingiramu okufaayo okulaba nti ennyumba bazadde baabwe mwe bali eri mu mbeera nnungi, n’okubayambako mu by’enfuna we kiba kyetaagisa.​—1 Timoseewo 5:3, 4.