Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri akatoffaali ka yisiti gye kaakulamu ewuniikiriza. Mu makkati gaako kalimu endagabutonde, era kalimu n’ebirungo ebikasobozesa okumenyaamenya ebintu ebitali bimu ne kakola emmere, era ebikasobozesa n’okubaawo nga kalamu.

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiramu

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiramu

Ebintu ebiramu bikula, bitambula, era bizaala. Bifuula ensi okuba ng’erabika bulungi nnyo. Leero abantu bamanyi bingi nnyo ebikwata ku bintu ebiramu okusinga bwe kyali kibadde. Ebyo ebikwata ku bintu ebiramu biraga nti byava wa? Lowooza ku bino wammanga.

Engeri ebintu ebiramu gye byakulamu eraga nti kirabika byatondebwa. Ebintu ebiramu bikolebwa obutoffaali obusirikitu ennyo. Obutoffaali buno bulinga obukolero obutono obukola ebintu ebyewuunyisa nkumi na nkumi ebisobozesa ebiramu okuzaala, n’okubaawo nga biramu. Engeri obutoffaali buno gye bukolamu ebintu tesangibwa walala wonna. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku buntu obulamu obusirikitu obuyitibwa baker’s yeast. Obuntu buno bwe bukozesebwa mu kuzimbulukusa emigaati n’ebintu ebirala, era bumanyiddwa nnyo nga yisiti. Buli kamu ku buntu buno kaba n’akatoffaali kamu kokka. Akatoffaali ka yisiti bw’okageraageranya n’obutoffaali obuli mu mubiri gw’omuntu, ko kalabika nga kalimu ebintu bitono. Kyokka engeri gye kaakulamu n’engeri gye kakolamu ebintu yeewuunyisa. Mu makkati gaako mulimu endagabutonde (DNA). Akatoffaali kano kalina engeri gye kamenyaamenya ebirungo ebitali bimu ne kakola emmere gye keetaaga. Emmere gye kalyako bw’etabaawo, kalekera awo okukola ebintu bye kakola ne kaba ng’akeebase. Eyo ye nsonga lwaki yisiti akozesebwa okuzimbulukusa emigaati asobola okuterekebwa okumala ekiseera kiwanvu, kyokka n’aba ng’akyakola.

Bannassaayansi bamaze emyaka mingi nga beekenneenya obutoffaali bwa yisiti okusobola okutegeera obutoffaali obuli mu mubiri gw’omuntu. Naye bye baakayiga bye bitono. Munnassaayansi ayitibwa Ross King ow’omu yunivasite emu mu Sweden agamba nti, ‘Tewaliiwo bannassaayansi bamala okusobola okunoonyereza ku bintu ebitali bimu ebikwata ku katoffaali ka yisiti tusobole okukategeera obulungi.’

Olowooza otya? Engeri eyeewuunyisa akatoffaali ako gye kaakulamu eraga nti waliwo eyakakola? Ddala kisoboka okuba nti kajjawo kokka?

Ebintu ebiramu biva mu bintu ebiramu. Endagabutonde ekolebwa obuntu obusirikitu obuyitibwa nucleotide. Buli kamu ku butoffaali obuli mu mubiri gw’omuntu kalimu obuntu buno obuyitibwa nucleotide obuwumbi busatu mu obukadde bibiri. Obuntu obwo busengekeddwa mu ngeri entuufu era mu bifo ebituufu, ekisobozesa obutoffaali okukola ebirungo ebiyitibwa enzymes n’ekiriisa ekiyitibwa proteins.

Bannassaayansi bagamba nti singa obuntu obwo obuyitibwa nucleotide bwali busobola okwesengeka bwokka emirundi buwumbi na buwumbi, bwandibadde busobola kukolayo endagabutonde ng’emu yokka. Mu butuufu tebusobola kwesengeka bwokka kukola ndagabutonde.

Ekituufu kiri nti mu ebyo bannassaayansi bye baakanoonyereza, tewaliiwo kiraga nti ebintu ebiramu bisobola okuva mu bintu ebitali biramu.

Obulamu bw’omuntu bwa njawulo. Ffe abantu tulina ebintu ebitusoboseza okunyumirwa obulamu mu bujjuvu, era ng’ekyo si bwe kiri eri ebiramu ebirala. Tulina obusobozi bw’okuyiiya ebintu ebitali bimu, okuwuliziganya ne bannaffe, era n’okwoleka enneewulira. Tunyumirwa okuloza ku bintu, okuwunyiriza, okuwulira amaloboozi g’ebintu ebitali bimu, okutunuulira langi ez’enjawulo, n’ebintu ebirala. Tweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso, era twagala okumanya ensonga lwaki weetuli.

Olowooza otya? Ebintu ebyo ebifuula abantu okuba ab’enjawulo byajjawo byokka olw’okuba baali babyetaaga okusobola okubaawo n’okuzaala? Oba biraga nti eriyo Omutonzi atwagala eyatuwa obulamu ng’ekirabo?