Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ku kkono: Hurricane Ian, Florida, USA, Ssebutemba 2022 (Sean Rayford/Getty Images); wakati: Maama ne mutabani we nga bava mu kifo gye babadde babeera, Donetsk, Ukraine, Jjulaayi 2022 (Alex Chan Tsz Yuk/SOPA Images/LightRocket via Getty Images); ku ddyo: Abantu bangi bakeberebwa COVID, Beijing, China, Apuli 2022 (Kevin Frayer/Getty Images)

BEERA BULINDAALA!

2022: Omwaka Ogw’Ebizibu eby’Amaanyi—Bayibuli Ekyogerako Ki?

2022: Omwaka Ogw’Ebizibu eby’Amaanyi—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Mu mwaka gwa 2022, entalo, embeera y’ebyenfuna enzibu, n’obutyabaga bye byefuze amawulire. Bayibuli yokka y’esobola okutubuulira amakulu g’ebintu ebyo.

Amakulu g’ebintu ebibaddewo mu 2022

 Ebibaddewo mu mwaka oguwedde byongera okukakasa nti tuli mu kiseera Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1) Ekiseera ekyo kyatandika mu 1914. Weetegereze engeri ebyo ebibaddewo gye bikwataganamu n’ebyo Bayibuli bye yalagula ku kiseera kyaffe:

 “Entalo.”Matayo 24:6.

  •   “2022 gwe Mwaka Bulaaya Lwe Yaddamu Okwolekagana n’Embeera Embi Ennyo Ereetebwa Olutalo.” a

 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Russia Erumba Ukraine.”

 “Enjala.”Matayo 24:7.

  •   “2022: Omwaka Ogubaddemu Enjala Etabangawo.” b

 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Olutalo Oluli mu Ukraine Luviiriddeko Enjala Okweyongera.”

 “Endwadde ez’Amaanyi.”Lukka 21:11.

  •    “Obulwadde bwa pooliyo bwasitula buto, ekirwadde kya monkeypox kyabalukawo, ne COVID-19 akyeyongera okutta abantu. Ekyo kyalaga nti endwadde ezo ez’akabi kizibu nnyo abantu okuzitangira okubakwata.” c

 Laba ekitundu ekirina omutwe, “COVID Asse Abantu Obukadde 6.”

 “Ebintu ebitiisa.”Lukka 21:11.

  •   “Ebbugumu ery’amaanyi, ebyeya, omuliro, n’amataba. Omwaka 2022 gujja kujjukirwa nnyo olw’ebintu ebyo ebyaviirako ebintu bingi nnyo okwonooneka, abantu mitwalo na mitwalo okufa, era ne biviirako n’abalala bangi okwetooloola ensi okuva mu bitundu gye baali babeera.” d

 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Ebbugumu Okweyongera ku Kigero Ekitabangawo mu Nsi Yonna.”

 “Obwegugungo [oba, ‘obukyankalano; obutabanguko,’ obugambo obuli wansi].”Lukka 21:9.

  •   “Olw’okuba abantu baali banyiivu nnyo olw’embeera y’ebyenfuna okukaluba, naddala olw’ebbeeyi y’ebintu okulinnya, mu 2022 beekalakaasa nnyo nga bawakanya gavumenti.” e

 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Emiwendo gy’Ebintu Okulinnya mu Nsi Yonna.”

Omwaka ogujja gunaabeera gutya?

 Tewali n’omu amanyidde ddala kinaabaawo mu 2023. Kye tumanyi kiri nti Obwakabaka bwa Katonda, oba gavumenti ey’omu ggulu, mangu ddala bujja kuleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. (Danyeri 2:44) Gavumenti eyo ejja kuggyawo byonna ebiviirako abantu okubonaabona era ekakase nti Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi.—Matayo 6:9, 10.

 Tukukubiriza ‘okubeera obulindaala’ nga Yesu bwe yagamba, osobole okumanya engeri ebigenda mu maaso mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli. (Makko 13:37) Tukusaba otutuukirire osobole okumanya engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyambamu kati era n’engeri gy’eyinza okukuyamba ggwe awamu n’ab’omu maka go okuba n’essuubi erya nnamaddala.

a AP News, “2022 gwe Mwaka Bulaaya Lwe Yaddamu Okwolekagana n’Embeera Embi Ennyo Ereetebwa Olutalo.” Byayogerwa Jill Lawless, nga 8 Ddesemba, 2022.

b World Food Programme, “Enjala ey’Amaanyi mu Nsi Yonna.”

c JAMA Health Forum, “Tuli mu Kiseera ky’Endwadde Ezisaasaana—COVID-19, Monkeypox, Pooliyo, n’Endwadde Endala.” Bya Lawrence O. Gostin, JD, Ssebutemba 22, 2022.

d Earth.Org, “Kiki Ekiviiriddeko Ebbugumu Okweyongera Ennyo mu 2022?” Bya Martina Igini, Okitobba 24, 2022.

e Carnegie Endowment for International Peace, “Embeera y’Ebyenfuna Embi Yaviirako Abantu mu Nsi Yonna Okwekalakaasa mu 2022.” Bya Thomas Carothers ne Benjamin Feldman, Ddesemba 8, 2022.