Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Manuel Reino Berengui/DeFodi Images via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Empaka z’Omupiira ez’Ensi Yonna Ddala Ziyinza Okuleetera Abantu Okubeera Obumu?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Empaka z’Omupiira ez’Ensi Yonna Ddala Ziyinza Okuleetera Abantu Okubeera Obumu?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Abantu nga buwumbi butaano basuubirwa okulaba empaka z’omupiira ez’ensi yonna ezijja okubaawo okuva nga Noovemba 20 okutuka nga Ddesemba  18, 2022. Bangi balowooza nti emikolo ng’egyo egy’emizannyo gisingawo ku kulaba obulabi omupiira.

  •   “Eby’emizannyo biyinza okukyusa ensi. Biyinza okukubiriza abantu okubaako kye bakola. Bisobola okuleetera abantu okuba obumu.”—Nelson Mandela, eyaliko omukulembeze wa South Africa.

  •   “Omupiira guleetera abantu okuba obumu era gubaleetera okuba n’essuubi, essanyu era n’okwagalana olw’okuba abantu baba n’ekintu kye bafaanaganya.”—Gianni Infantino, akulira FIFA. a

 Empaka z’Omupiira ez’Ensi Yonna oba emizannyo emirala giyinza okuviirako ebintu ng’ebyo ebirungi okubaawo? Waliwo essuubi nti abantu bayinza okuba obumu era nga bali mu mirembe?

Ddala empaka ezo ziyinza okuleetaawo obumu?

 Empaka z’Omupiira ez’Ensi Yonna ez’omwaka guno tezeetoolooledde ku kulaba bulabi mupiira kyokka. Zireetedde abantu okukubaganya ebirowoozo ku by’obufuzi, eddembe ly’obuntu, obusosoze n’eky’okuba nti abantu abamu bagagga nnyo ate abalala baavu nnyo.

 Wadde kiri kityo, abantu bangi banyumirwa eby’emizannyo nga mwotwalidde n’Empaka z’Omupiira ez’Ensi Yonna. Kyokka, wadde abantu baagala nnyo eby’emizannyo, tebisobola kuleeta bumu bwa lubeerera. Emirundi mingi emizannyo egitegekebwa gyoleka ebikolwa n’endowooza ezaawulayawula mu bantu, ebintu Bayibuli bye yalagula okubaawo mu “nnaku ez’enkomerero.”—2 Timoseewo 3:1-5.

Ekinaaleeta Obumu mu nsi yonna

 Bayibuli esuubiza nti wajja kubaawo obumu mu nsi yonna. Egamba nti abantu ku nsi bajja kuba bumu era nga bafugibwa gavumenti ey’omu ggulu eyitibwa “Obwakabaka bwa Katonda.”Lukka 4:43; Matayo 6:10.

 Kabaka w’Obwakabaka obwo, Yesu Kristo, ajja kukakasa nti wabaawo emirembe mu nsi yonna. Bayibuli egamba nti:

  •   “Abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo.”—Zabbuli 72:7.

  •   “Anaanunulanga abaavu abawanjaga . . . Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:12, 14.

 Ne mu kiseera kino, enjigiriza za Yesu ziiretedde abantu bangi nnyo mu nsi 239 okuba obumu. Zibayambye okweggyamu obukyayi. Okumanya ebisingawo, soma ebitundu ebiddiriŋŋana ebirina omutwe “Ebisobola Okutuyamba Okweggyamu Obukyayi.”

a Fédération Internationale de Football Association, the international governing body for association football (soccer).