Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Okukuba Amasasi ku Ssomero—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Okukuba Amasasi ku Ssomero—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Nga 24 Maayi, 2022, ekintu ekyennyamiza kyaliwo mu kabuga akatono akayitibwa Uvalde, mu Texas, Amerika. Okusinziira ku lupapula lw’amawulire oluyitibwa The New York Times, “omusajja yatta abaana 19 n’abasomesa 2 . . . mu Robb Elementary School.”

 Eky’ennaku, ebikolwa ng’ebyo eby’entiisa bitera okubaawo. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa USA Today lwagamba nti mu Amerika mwokka, “omwaka ogwayita, baakuba amasasi ku masomero agatali gamu emirundi 249—ogwo gwe muwendo ogukyasinze mu mwaka ogumu okuva mu 1970.”

 Lwaki ebikolwa bino eby’entiisa bibaawo? Tuyinza tutya okwolekagana nabyo? Ekiseera kirituuka ebikolwa eby’obukambwe ne bikoma? Bayibuli etuwa eby’okuddamu.

Lwaki ensi yeeyongedde okubaamu ebikolwa eby’ettemu?

  •    Bayibuli eyita ekiseera kyaffe ‘ennaku ez’enkomerero,’ era egamba nti abantu bandibadde “tebaagala ba luganda lwabwe” nga “bakambwe,” era nga beenyigira mu bikolwa eby’ettima era eby’obukambwe. Abo abakola ebintu ebyo ‘bandyeyongeredde ddala okuba ababi.’ (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe “Did the Bible Predict the Way People Think and Act Today?

 Abantu bangi beebuuza nti, ‘Lwaki Katonda taziyiza bintu ng’ebyo ebibi okubaawo?’ Okumanya Bayibuli ky’egamba, soma ekitundu ekirina omutwe “Lwaki Abantu Abalungi Bafuna Ebizibu?

Tuyinza tutya okwolekagana n’ebintu ng’ebyo ebibi?

  •    “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu . . . kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.

 Emisingi gya Bayibuli giyinza okukuyamba okwolekagana n’ensi erimu ebikolwa eby’obukambwe. Okumanya ebisingawo laba magazini ya Awake! erina omutwe, Will Violence Ever End?

 Ku ngeri abazadde gye bayinza okuyambamu abaana baabwe okwolekagana n’ebintu ebitiisa bye balaba oba bye bawulira mu mawulire, soma ekitundu ekirina omutwe, Disturbing News Reports and Your Children.”

Ekiseera kirituuka ebikolwa eby’obukambwe ne bikoma?

  •    “Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:14.

  •    “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi, n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Mikka 4:3.

 Katonda ajja kukola ekyo abantu kye batasobola kukola. Obwakabaka bwe obw’omu ggulu bujja kusaanyaawo eby’okulwanyisa byonna era bukomye ebikolwa eby’obukambwe. Okumanya ebisingawo ku ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola, soma ekitundu ekirina omutwe “‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga.”