Buuka ogende ku bubaka obulimu

Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?

Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda. Obwakabaka bwa Katonda si mbeera eri mu mitima gy’Abakristaayo. * Bayibuli ebuyita “Obwakabaka obw’omu ggulu,” ekiraga nti buli mu ggulu. (Matayo 4:17) Ka tulabe engeri Bayibuli gy’eragamu nti Obwakabaka obwo gavumenti ya ddala, era nti bufugira mu ggulu.

 Bayibuli teraga nti Obwakabaka bwa Katonda bufugira mu mutima gw’omuntu. Kyokka Bayibuli eraga nti “ekigambo ky’Obwakabaka” oba ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ gasobola okukwata ku mitima gyaffe ne tubaako kye tukolawo.​—Matayo 13:19; 24:14.

Ebigambo “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe” birina makulu ki?

 Abantu abamu babuzaabuzibwa bwe kituuka ku kifo Obwakabaka bwa Katonda we buli olw’engeri ebigambo ebiri mu Lukka 17:21 gye byavvuunulwamu mu nkyusa za Bayibuli ezimu. Ng’ekyokulabirako, enkyusa ya King James Version egamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.” Okusobola okutegeera obulungi ebigambo ebyo, tusaanidde okwetegereza obulungi ebigambo ebiriraanye olunyiriri olwo.

Obwakabaka bwa Katonda tebwali mu mitima gy’abalabe ba Katonda abaali abatemu era abaalina emitima emikakanyavu

 Yesu yali ayogera eri abakulembeze b’eddiini y’Abafalisaayo, abaali batamwagala era abeenyigira mu kukola olukwe okumutta. (Matayo 12:14; Lukka 17:20) Ddala kikola amakulu okugamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwali mu mitima gy’abantu abo emikakanyavu? Yesu yabagamba nti: “Munda mujjudde obunnanfuusi n’obujeemu.”​—Matayo 23:27, 28.

 Enkyusa za Bayibuli endala ziggyayo bulungi amakulu g’ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 17:21: “Obwakabaka bwa Katonda buli wano nammwe.” (Contemporary English Version) “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” (Enkyusa ey’Ensi Empya) Obwakabaka bwa Katonda bwali n’Abafalisaayo oba bwali “wakati mu bo” mu ngeri nti Yesu, oyo Katonda gwe yalonda okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo, yali ayimiridde wakati mu bo.​—Lukka 1:32, 33.

^ lup. 1 Amadiini mangi ageeyita Amakristaayo gayigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda buba mu muntu oba mu mutima gw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, eddiini eyitibwa Southern Baptist Convention eri mu Amerika egamba nti “Obwakabaka bwa Katonda bwe bufuzi bwa Katonda obufugira mu mutima gw’omuntu oba mu bulamu bw’omuntu.” Ate mu kitabo ekiyitibwa Jesus of Nazareth, Paapa Benedict XVI yagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bubeera mu mutima omuwulize.”