Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 1

Ennyanjula Ennungi

Ennyanjula Ennungi

Ebikolwa 17:22

MU BUFUNZE: Ennyanjula yo esaanidde okuleetera abakuwuliriza okwesunga ky’ogenda okwogerako, okumanya ensonga gy’ogenda okwogerako, era n’obukulu bw’ensonga eyo.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Baleetere okwesunga. Kozesa ekibuuzo, ebigambo, ekintu ekyaliwo ddala oba ekibadde mu mawulire, ekiyinza okusikiriza abakuwuliriza.

  • Laga ky’ogenda okwogerako. Kakasa nti ennyanjula yo eyamba abakuwuliriza okumanya ensonga gy’ogenda okwogerako n’ekigendererwa kyayo.

  • Laga ensonga lwaki ky’ogenda okwogerako kikulu. Ky’ogenda okwogerako kituukaganye n’ebyetaago by’abakuwuliriza. Balina okutegeera engeri gye banaaganyulwamu.