Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 2

Okwogera ng’Anyumya

Okwogera ng’Anyumya

2 Abakkolinso 2:17

MU BUFUNZE: Yogera mu ngeri eya bulijjo era ng’oli mwesimbu. Ekyo kijja kulaga nti ensonga gy’oyogerako nkulu era nti ofaayo ku bakuwuliriza.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Saba Yakuwa era weeteeketeeke bulungi. Saba Yakuwa akuyambe okussa ebirowoozo byo ku by’ogenda okwogera, so si ku ekyo abakuwuliriza kye bakulowoozaako. Tegeera bulungi ensonga enkulu eziri mu ebyo by’ogenda okwogera. Ensonga ezo ziteeke mu bigambo byo mu kifo ky’okuzikwata obukusu.

  • Yogera ebiva ku mutima. Lowooza ku nsonga lwaki abanaakuwuliriza beetaaga okuwulira by’ogenda okubabuulira. Ebirowoozo byo bisse ku bo. Bw’onookola bw’otyo, engeri gy’onooyimiriramu, n’engeri gy’onookozesaamu ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso bijja kulaga nti oli mwesimbu era nti obafaako.

  • Tunuulira abakuwuliriza. Tunuulira abakuwuliriza bwe kiba nga tekibayisa bubi. Bw’oba oyogera eri abantu abangi, tunuulira omuntu omu omu mu kifo ky’okutambuza amaaso buli wamu.