Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • NNAZAALIBWA: 1982

  • ENSI: DOMINICAN REPUBLIC

  • EBYAFAAYO: NNAKUZIBWA MU DDIINI Y’ABAMOMONI

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA:

Nnazaalibwa mu kibuga Santo Domingo, mu nsi eyitibwa Dominican Republic. Twazaalibwa abaana bana era nze muggalanda. Bazadde bange baali bayivu nnyo era baayagala abaana baabwe bakulire mu bantu ab’empisa ennungi era abeesigwa. Emyaka ena nga sinnazaalibwa, bazadde bange baasisinkana Abamomoni abaminsani. Olw’okuba abavubuka abo baali bayonjo nnyo era nga beeyisa bulungi, bazadde bange baakwatibwako nnyo era ne basalawo amaka gaffe gabe agamu ku ago agasoose okwegatta ku ddiini y’Abamomoni mu Dominican Republic.

Bwe nnagenda nkula, nnanyumirwanga nnyo okukola emirimu gy’ekkanisa era nnassanga nnyo ekitiibwa mu ebyo Abamomoni bye baayigirizanga ebikwata ku bulamu bw’amaka n’emitindo gy’empisa. Nneenyumiririzanga nnyo mu kubeera Omumomoni era nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka omuminsani.

Bwe nnaweza emyaka 18, twasengukira mu kibuga Florida mu Amerika nsobole okusomera mu Yunivasite ennungi. Nga twakamalayo omwaka gumu, kojja ne ssenga nga Bajulirwa ba Yakuwa, bajja okutukyalira. Baatusaba tugende nabo mu Lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakwatibwako nnyo bwe nnalaba nga buli omu mu lukuŋŋaana olwo abikkula Bayibuli era ng’alina by’awandiika. Nnasaba ppeeni nange ne ntandika okukola kye kimu.

Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, kojja ne ssenga baŋŋamba nti okuva bwe kiri nti nnali njagala okufuuka omuminsani, baali basobola okunnyamba okuyiga Bayibuli. Ekyo nnakikkiriza kubanga mu kiseera ekyo, nnali mmanyi ebiri mu kitabo ky’Abamomoni okusinga ebyo ebiri mu Bayibuli.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Kojja ne ssenga banjigiririzanga Bayibuli ku ssimu, era bankubirizanga okugeraageranya ebyo bye nnali nzikiririzaamu n’ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli. Baali baagala nneekakasize obanga bye nnali njiga ge mazima.

Waliwo enjigiriza z’Abamomoni nnyingi ze nnali nzikiririzaamu, naye saali mukakafu obanga zeesigamiziddwa ku Bayibuli. Ssenga yampeereza magazini eyitibwa Awake!, eya Noovemba 8, 1995 eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, eyali eyogera ku zimu ku njigiriza z’Abamomoni. Kyanneewuunyisa nnyo okukimanya nti waaliwo enjigiriza z’Abamomoni nnyingi ze nnali ssimanyi. Nnasalawo okugenda ku mukutu gwa Intaneeti ogw’Abamomoni nkakase obanga ebyali mu magazini eyo byali bituufu. Byali bituufu ddala, era bwe nnagenda mu myuziyamu y’Abamomoni eri mu ssaza eriyitibwa Utah ery’omu Amerika, nnaggwamu akakunkuna.

Mu kusooka, nnali ndowooza nti Ekitabo ky’Abamomoni ne Bayibuli bikwatagana. Naye bwe nnatandika okwekenneenya Bayibuli, nnakizuula nti enjigiriza z’Abamomoni zikontana n’ebyo ebiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, mu Ezeekyeri 18:4, Bayibuli egamba nti emmeeme efa. Kyokka kyo Ekitabo ky’Abamomoni, mu Alma 42:9, kigamba nti: “Emmeeme tesobola kufa.”

Ng’oggyeko enjigiriza zaabwe ezikontana ne Bayibuli, enjigiriza z’Abamomoni ezitumbula mwoyo gwa ggwanga nazo zantabula nnyo. Ng’ekyokulabirako, Abamomoni bayigiriza nti olusuku Adeni lwali mu Amerika, mu kibuga ekiyitibwa Jackson County, ekiri mu ssaza lya Missouri. Ate era bayigiriza nti ekiseera kijja kutuuka Katonda afuge ensi yonna ng’ayitira mu gavumenti y’Amerika.

Nneebuuzanga nti bwe kiba bwe kityo, kiki ekyandituuse ku nsi endala, nga mw’otwalidde n’eyo mwe nnazaalibwa? Lumu bwe nnali nnyumya n’omuvubuka omu Omumomoni eyali atendekebwa okufuuka omuminsani, twayogera ku nsonga eyo. Nnamubuuza obanga yandirwanye n’Omumomoni munne ow’eggwanga eddala singa amawanga gaabwe gaba galwanagana mu lutalo. Kyanneewuunyisa nnyo bwe yanziramu nti yee! Nneeyongera okunoonyereza ku nzikiriza z’eddiini eyo era nnabuuzanga abakulembeze baayo. Baŋŋambanga nti eby’okuddamu mu bibuuzo byange si kyangu kubitegeera naye nti nnandibitegedde ng’ekitangaala eky’eby’omwoyo kigenda kyeyongera.

Olw’okuba engeri gye banzirangamu teyammatizanga nnatandika okufumiitiriza ku nsonga lwaki nnali njagala okufuuka omuminsani. Nnakiraba nti nnali njagala okufuuka omuminsani kubanga nnali njagala okuyamba abantu. N’ekitiibwa kye nnandifunye kyansikiriza okwagala okufuuka omuminsani. Naye ekituufu kiri nti, nnali mmanyi kitono nnyo ku bikwata ku Katonda. Wadde nga nnali nsomye Bayibuli enfunda eziwera, nnali sigitwala nga ya muwendo. Nnali simanyi kigendererwa kya Katonda eri ensi n’eri abantu.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Abajulirwa ba Yakuwa bwe baatandika okunjigiriza Bayibuli, nnayiga ebintu bingi nnyo, nga mw’otwalidde erinnya lya Katonda, ekituuka ku muntu ng’afudde, n’ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Nnatandika okutegeera Bayibuli era nnanyumirwanga nnyo okubuulirako abalala amazima ge nnali njiga. Nnali mmanyi nti Katonda gyali, naye oluvannyuma lw’okuyiga Bayibuli nnatandika okumusaba nga bye njogera biviira ddala ku mutima. Nnabatizibwa nga Jjulaayi 12, 2004 ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa, era oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, nnatandika okuweereza Yakuwa ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna.

Nnamala emyaka etaano nga mpeereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu Brooklyn, New York, mu Amerika. Nnanyumirwanga nnyo okuyambako mu mulimu gw’okufulumya Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola ebiyamba obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna, era nkyeyongera okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda.