Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnayiga Okwewa Ekitiibwa n’Okuwa Abakazi Ekitiibwa

Nnayiga Okwewa Ekitiibwa n’Okuwa Abakazi Ekitiibwa
  • NNAZAALIBWA: 1960

  • ENSI: BUFALANSA

  • EBYAFAAYO: NNALI NKOZESA EBIRAGALALAGALA ERA NGA SIWA BAKAZI KITIIBWA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kibuga Mulhouse mu buvanjuba bwa Bufalansa mu katundu akamu akaali kamanyiddwa okubaamu abantu abakambwe. Mu maka agasinga obungi mu kitundu ekyo abantu baayombanga buli kiseera. Mu maka gaffe, abakazi baanyoomebwanga era abasajja tebaabeebuuzangako. Nnayigirizibwa nti abakazi balina kuba mu kiyungu, n’okulabirira abasajja n’abaana.

Embeera gye nnakuliramu yali nzibu nnyo. Bwe nnali wa myaka kkumi, taata yafa olw’okunywa ennyo omwenge. Nga wayiseewo emyaka etaano, omu ku baganda bange abakulu yetta. Mu mwaka gwe gumu, omu ku b’eŋŋanda zange yatemulwa nga ndaba olw’obutategeeragana obwaliwo mu b’eŋŋanda, era ekyo kya nkuba encukwe. Ab’eŋŋanda zange banjigiriza okukozesa obwambe, emmundu, n’okulwana buli lwe kiba kyetaagisizza. Nnatandika okwekuba ttatu n’okunywa omwenge.

We nnawereza emyaka 16, nnali nnywa eccupa za bbiya eziri wakati wa 10 ne 15 buli lunaku, era oluvannyuma nnatandika okukozesa ebiragalalagala. Ssente ze nnakozesanga naziggyanga mu kutunda byuma bikadde n’okubba. Nnasibwako mu kkomera nga sinnaweza myaka 17. Nnasibwa emirundi 18 olw’obubbi n’okuzza emisango emirala.

Wakati w’emyaka 20 ne 25, obulamu bwange bweyongera okwonooneka. Nnanywanga emisokoto gy’enjaga 20 buli lunaku era nnakozesanga n’ebiragalalagala ebirala. Emirundi mingi nnabulako katono okufa olw’okukozesa ennyo ebiragalalagala. Nnatandika okutunda ebiragalalagala era nnatambulanga n’obwambe n’emmundu. Lumu, nnali nzise omusajja naye ekyannyamba essasi lyakuba ku kyuma ky’omusipi gwe! Maama yafa nga ndi wa myaka 24, era ekyo kyandeetera okweyongera okuba omukambwe. Abantu bantyanga era bwe bandabanga nga nzija, nga banviira. Olw’okuba nnalwananga nnyo, wiikendi ezisinga nnazimalanga ku poliisi oba mu ddwaliro nga bansiba biwundu.

Nnawasa nnina emyaka 28, era oyinza okuteebereza engeri gye nnayisangamu mukyala wange. Nnamuvumanga era nnamukubanga. Tewaaliwo kintu na kimu kye twakoleranga awamu ng’abafumbo. Nnali ndowooza nti kimala okumuwa amajolobero ag’ebbeeyi ge nnabbanga. Kyokka lumu Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigiriza mukyala wange Bayibuli. Ku mulundi gwennyini gwe baasooka okumuyigiriza, yalekera awo okunywa ssigala. Ate era teyaddamu kukkiriza majolobero ge nnamuwanga, era yanziriza ge nnali nnamuwa. Nnanyiiga nnyo ne ntandika okumugaana okuyiga Bayibuli, era bwe nnabanga nnywa ssigala nnamufuuyiranga ekikka mu maaso. Ate era nnamwogerangako bubi mu baliraanwa.

Lumu bwe nnali ntamidde, enju yaffe nnagikumako omuliro. Mukyala wange ye yatutaasa, nze ne muwala waffe ow’emyaka etaano. Omwenge bwe gwanzigwako, nnawulira ng’omutima gunnumiriza nnyo olw’ebyo bye nnali nkoze. Muli nnawuliranga nti Katonda tasobola kunsonyiwa. Nnajjukira munnaddiini omu eyagamba nti abantu ababi bajja kwokebwa mu muliro ogutazikira. N’omusawo eyali annyamba okuvvuunuka emize gye nnalina yaŋŋamba nti: “Ebibyo biwedde, sikyalina kye nnyinza kukola kukuyamba.”

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Oluvannyuma lw’ennyumba yaffe okuggya, twagenda ne tutandika okubeera ne bazadde ba mukyala wange. Abajulirwa ba Yakuwa bwe bajja okukyalira mukyala wange, nnababuuza obanga Katonda ayinza okunsonyiwa ebibi byonna bye nnakola. Bandaga ekyawandiikibwa ekiri mu 1 Abakkolinso 6:9-11. Ennyiriri ezo ziraga ebikolwa Katonda byatayagala, era olunyiriri 11 lugamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.” Ebigambo ebyo byankakasa nti nnali nsobola okukyusa enneeyisa yange. Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa bankakasa nti Katonda anjagala nnyo nga bandaga ekyawandiikibwa ekiri mu 1 Yokaana 4:8. Ekyo kyanzizaamu nnyo amaanyi era nnasaba Abajulirwa ba Yakuwa okunjigiriza Bayibuli emirundi ebiri buli wiiki. Nnasabanga nnyo Yakuwa.

Oluvannyuma lw’omwezi gumu gwokka, nnalekera awo okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala. Nnatandika okuwulira ng’alina olutalo mu mubiri gwange; nnalootanga ebirooto ebibi, nnalumwanga omutwe, era n’obulumi obulala obwava ku kulekera awo okukozesa ebiragalalagala. Naye mu kiseera kye kimu, nnawulira nga Yakuwa gw’akutte ku mukono era ng’anzizaamu amaanyi. Nnawulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Oluvannyuma lw’ekiseera, nange nnalekera awo okunywa ssigala.​—2 Abakkolinso 7:1.

Ng’oggyeeko okuba nti Bayibuli yannyamba okuteereza obulamu bwange, yatereeza n’amaka gaffe. Nnatandika okussa ekitiibwa mu mukyala wange, era n’okumwebaza olw’ebyo bye yabanga akoze. Ate era nnatandika okufaayo ennyo ku muwala waffe nga taata omulungi bwe yandikoze. Oluvannyuma lw’okuyiga Bayibuli okumala omwaka gumu, nange nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa nga mukyala wange bwe yali akoze.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Ndi mukakafu nti Bayibuli ye yawonya obulamu bwange. N’ab’eŋŋanda zange abatali Bajulirwa ba Yakuwa bakiraba nti nnandibadde nnafa dda olw’engeri gye nnali nneeyisaamu.

Bayibuli yakyusa obulamu bwange era ennyambye okubeera omwami era omuzadde ow’obuvunaanyizibwa. (Abeefeso 5:25; 6:4) Kati tuli bumu ng’amaka era buli kimu tukikolera wamu. Mu kifo ky’okulagira mukyala wange okubeeranga mu kiyungu, mmuwagira mu buweereza bwe ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Era naye annyamba nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange ng’omukadde mu kibiina.

Nsiima nnyo okwagala n’ekisa Yakuwa Katonda bye yandaga. Abo abatwalibwa nti tebalina mugaso njagala nnyo okubabuulira ku kwagala kwa Yakuwa n’ekisa kye, kubanga nange bwe ntyo bangi bwe baali bantwala. Nkimanyi nti Bayibuli esobola okuyamba omuntu yenna okuba n’obulamu obw’amakulu. Bayibuli teyakoma ku kunjigiriza kuwa bantu bonna kitiibwa, ka babe basajja oba bakazi, naye era yannyamba okuyiga okwewa ekitiibwa.