Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO

Okubudaabuda Abafiiriddwa

Okubudaabuda Abafiiriddwa

Wali obaddeko mu mbeera nga mukwano gwo afiiriddwa naye nga tomanyi ngeri ya kumubudaabudamu? Oluusi tubulwa eky’okwogera oba eky’okukola n’ekivaamu ne tusirika busirisi. Naye waliwo bye tusobola okukola okubudaabuda omuntu afiiriddwa.

Oluusi weetaaga kubeerawo bubeezi n’okumugamba ebigambo ebitonotono gamba nga “Kitalo nnyo!” Mu mawanga agamu, omuntu abudaabudibwa bw’omugwa mu kafuba oba bw’omukwata ku kibegaabega. Bw’aba aliko ky’ayagala okukugamba, muwulirize bulungi. N’ekisinga obukulu, baako ky’okolera ab’omu maka g’omuntu afiiriddwa gamba ng’okubayambako ku mirimu, okulabirira abaana, n’okuteekateeka eby’okuziika. Ebikolwa ng’ebyo bisinga okwogera obwogezi.

Oluvannyuma lw’ekiseera, oyinza okwogera ku birungi omugenzi by’abadde akola. Emboozi ng’eyo eyinza n’okuleeta akaseko ku matama g’oyo afiiriddwa. Ng’ekyokulabirako, omukyala ayitibwa Pam, eyafiirwa omwami we emyaka mukaaga egiyise agamba nti: “Oluusi abantu bambuulira ebintu ebirungi omwami wange bye yakolanga era ekyo kindeetera okuwulira obulungi.”

Eky’ennaku, kizuuliddwa nti omuntu afiibwako nnyo bw’aba yaakafiirwa naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono mikwano baddayo ku mirimu gyabwe ne bamwerabira. N’olwekyo kiba kirungi okweyongera okuwuliziganya ne mukwano gwo eyafiirwa. * Bangi basiima nnyo bwe bafiibwako bwe batyo era kibayamba okuguma.

Lowooza ku Kaori, abeera e Japaani eyafiirwa maama we ate oluvannyuma lw’ebbanga lya mwaka nga gumu n’afiirwa muganda we omukulu. Agamba nti, mikwano gye beeyongera okumubudaabuda. Omu ku mikwano gye ayitibwa Ritsuko omukulu okumusinga yamusuubiza obutamuva ku lusegere. Kaori agamba nti: “Mu kusooka ekyo tekyansanyusa kubanga nnali saagala muntu yenna adde mu kifo kya maama, era nnali sisuubira nti waliwo omuntu yenna ayinza okubeera nga maama. Kyokka olw’engeri Ritsuko gye yampisaamu, yafuuka nga maama wange. Buli wiiki, twagendanga ffenna okubuulira ne mu kusinza. Yankyazanga ne tunywako ka caayi, yandeeteranga emmere, era yampeerezanga amabaluwa ne kaadi. Ritsuko yambudaabuda nnyo.”

Wayiseewo emyaka 12 bukya maama wa Kaori afa era kati Kaori n’omwami we babuulizi ab’ekiseera kyonna. Kaori agamba nti: “Ritsuko akyanfaako. Buli lwe nzirayo eka, mmukyalira ne tunyumya.”

Omuntu omulala eyaganyulwa mu kubudaabudibwa ye Poli, Omujulirwa wa Yakuwa abeera mu Cyprus. Omwami we yali wa kisa nnyo era yateranga okukyaza bannamwandu ne bamulekwa ne baliirako wamu. (Yakobo 1:27) Eky’ennaku, omwami wa Poli yafuna ekizimba ku bwongo era n’afa ng’alina emyaka 53. Poli agamba nti: “Nnafiirwa omwami wange omwagalwa gwe nnali mmaze naye emyaka 33 mu bufumbo.”

Baako ky’okola okuyamba abo abali mu nnaku

Oluvannyuma lw’okuziika omwami we, Poli yasengukira mu Canada ne mutabani we ayitibwa Daniel ow’emyaka 15. Nga bali eyo, beeyongera okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Poli agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kibiina ekyo baali tebamanyi bizibu bye twafuna naye batufuula mikwano gyabwe era baatuyamba nnyo. Obuyambi obwo bwajjira mu kiseera mutabani wange we yali yeetaagira ennyo okubeera ne kitaawe. Ab’oluganda abaalina obuvunaanyizibwa mu kibiina ekyo, baali bafaayo nnyo ku Daniel. Omu ku bo yayitanga Daniel okuzannyirako awamu n’abalala akapiira.” Ekyo kyayamba Poli ne mutabani we okuguma.

Mu butuufu, waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola okubudaabuda abo abali mu nnaku. Bayibuli nayo etubudaabuda ng’etuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.

^ lup. 6 Abamu balamba ku kalenda yaabwe olunaku mukwano gwabwe lwe yafiirwa kibajjukize okumubudaabuda.