Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO

Kiba Kikyamu Okunakuwala?

Kiba Kikyamu Okunakuwala?

Wali olwaddeko? Oyinza okuba nga wawona mangu era nga kati n’obulumi wabwerabira. Naye bwe kityo si bwe kiba ng’omuntu afiiriddwa. Dr.  Alan Wolfelt yawandiika bw’ati mu kitabo kye ekiyitibwa Healing a Spouse’s Grieving Heart, “Ennaku y’okufiirwa omwagalwa wo teyinza kukuggwaako.” Naye agattako nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera era nga n’abalala bakugumizza, ennaku ekendeera.”

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Ibulayimu gye yawuliramu ng’afiiriddwa mukazi we Saala. Bayibuli egamba nti: “Ibulayimu n’akungubagira Saala era n’amukaabira.” Ekigambo “n’akungubagira” kiraga nti Ibulayimu kyamutwalira ekiseera okuguma. * Ate era lowooza ne ku Yakobo, batabani be gwe baalimba nti ensolo enkambwe yali esse mutabani we Yusufu. Yakobo yakungubaga “okumala ennaku nnyingi,” era n’ab’omu maka ge tebaasobola kumubudaabuda. Ne bwe waali wayiseewo emyaka mingi, yali akyalowooza ku Yusufu.​—Olubereberye 23:2; 37:34, 35; 42:36; 45:28.

Ibulayimu yakungubagira Saala

Ne leero abantu abafiiriddwa abaagalwa baabwe bamala ekiseera kiwanvu nga banakuwavu. Lowooza ku byokulabirako bino.

  • Gail, ow’emyaka 60 agamba nti: “Omwami wange, Robert, yafa nga Jjulaayi 9, 2008. Olunaku lwe yafiirako lwali ng’endala zonna. Bwe twamala okulya eky’enkya, nga tannagenda kukola, twegwa mu kafuba, era ne twesiibula bulungi buli omu n’agamba munne nti ‘Nkwagala nnyo.’ Kati wayiseewo emyaka mukaaga naye nkyawulira obulumi ku mutima. Sisuubira nti ennaku y’okufiirwa omwami wange erinzigwaako.”

  • Etienne, ow’emyaka 84 agamba nti: “Wadde nga wayiseewo emyaka 18 bukya nfiirwa mukyala wange, nkyamulowoozaako era mpulira ennaku. Buli lwe ndaba ekintu ekirabika obulungi, mmujjukira era ne ndowooza ku ngeri gye yandinyumiddwamu okulaba ebintu bye ndaba.”

Si kikyamu omuntu okuwulira bwatyo ng’afiiriddwa. Buli muntu anakuwala mu ngeri ya njawulo, era tekiba kituufu okunenya omuntu bw’anakuwala mu ngeri eyawukana ku yiyo. Ate era tetusaanidde kulowooza nti kikyamu okunawula ennyo. Kati olwo tuyinza tutya okuguma?

^ lup. 4 Isaaka mutabani wa Ibulayimu naye yanakuwala okumala ekiseera kiwanvu. Nga bwe kiragiddwa mu kitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ekiri mu katabo kano, Isaaka yali akyakungubagira maama we Saala eyali yafa emyaka esatu emabega.​—Olubereberye 24:67.